Aba Creamland Junior School – Ndejje basabidde abayizizi aba P.7.
Abayizi abasoba mu 100 bebagenda okutuula ebibuuzo ebyakamalirizo ebya P.7 omwaka guno 2024 ku somero lya Creamland Junior School erisangibwa E Ndejje mu Zanta, ebigenda okolebwa nga enaku z’omwezi 6 ne 7 omwezi guno okwetoloola eggwanga lyona nga basooka nessomo ery’okubalambika (Briefing) nga 4 (Monday).
Bano bakubiriziddwa okutya Allah ,n’okukola ebyo byayagala byokka nga kino kyakubayambako okubeera n’obulungamu okuva eri Omutonzi nga webagamba nti “Mukutya Katonda amagezi mwegasibuka”.
Obubaka buno bubaweereddwa Sheikh Ismail Muhammad Mayambala nga yakulembeddemu Eduwa eyokubasabira nga boolekera ebibuuzo ebyakamalirizo.
Ono era abakubirizza okugondera bakadde babwe nga bazeeyo ewaka nsaba n’abazadde okubeera ab’ekisa eri abaana babwe n’obutabakolimiranga.
Omukulu wessomero lino erya Creamland Junior School (HM) Thembo Mwidin akalatidde abayizi okukola emikwano emirungi mu somero era batambule nagyo munsi bewale empisa enkyamu eziyinza okuboononera ebiseera ebyomumaaso.
Yye omutandisi ow’essomero lino Kaliyo Zam Zam asabye abazadde bakuume ediini gyebabatadde mubaana bano nga babalondera amasomero amalungi n’okubalondoola entakera kubiki byebakola kumasimu.
Omu kubasomesa ate era abaddukanya essomero lino Sheikh Ssebumba Umar asibiridde abayizi entanda eyokwekirizaamu nokubeera abesimbu munkola yabwe eyemirimu kibayambeko okuvvunuka okusoomozebwa okujudde ensi eno.
Creamland Junior School lisangibwa Ndejje -Zanta Ntebbe road nga lisomesa ediini n’amasomo amalala.
Bya Ssali Nasif