Politics

Aba Homeland Junior School – Kavule Semuto bolesezza ebitone.

Nga abayizi bonna muggwanga batandise oluwummula lwabwe olw’olusoma olusembayo,abazadde bajjukiziddwa okutwaala obuvunanyizibwa bwabwe obw’okukuza abaana mumpisa neddini kibayambe obutagenda namuyaga gwansi.

Omulanga guno abazadde gubakubiddwa munnabyanjigiriza Ssenkumba Issa bwabadde omugenyi omukulu kusomero lya Homeland Junior School Lulagala E Kavule -Semuto Road mugombolola ya Gombe mu Wakiso,kumukolo abayizi b’essomero lino kwebolesereza ebitone byabwe omuli okusoma Quran,Hadith,okwogera Oluwarabu,ebitontome,eswallah omuli ney’omufu,emizannyo ejiyigiriza abato n’ebilala.

Mungeri yemu abayizi aba Top class nabo batikiddwa mubutongole okugenda mukibiina ekisooka omwaka ogujja.

Ssenkumba agambye nti abazadde balina omulimu munene okuwagira program zamasomero okusobola okufuna ebirungi mubaana b’eggwanga enkya.

Essomero lino erya Homeland Junior School Lulagala Kavule lyelimu kumasomero amatono ennyo agasomesa abaana eby’ensi neddini mubujjuvu era abazadde bomukitundu kino balyenyumirizamu nnyo kubbanga lyemyaka ettano gyelyakamala.

Principal Director wa Homeland Junior school Lulagala Kavule Ssemuto nga naye munnabyanjigiriza Hajji Twahiri Ssejjemba asiimye abazadde ababesize okubawa abaana nasuubiza nti bakwongera okubawa ekisinga.

Agambye nti olunaku luno olwa ‘Speech day’ balutekawo okwongera okuzuula ebitone ebiri Mubayizi bano, okubizimba basobole okufuuka abomugaso munsi eno ejjudde okuvuganya,agambye nti nga ojeeko ebyomukibiina abaana betaaga okuwagirwa mubitone bino osanga birina kyebiyinza okukyusa mubiseera byabwe nokubafuula abomugaso ddala.

Director w’esomero lino aliko abayizi 5 abasukulumye kubanabwe bawadde ‘bursary’ okweyongerayo n’emisomo gyabwe .

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *