Education

Aba Ibun Hamis Islamic bayitidde waggulu ebya S.4

Oluvanyuma lwa ministry ey’ebyenjigiriza okufulumya ebyavudde mu bigezo ebyabayizi abatuula ebibuuzo ebyakamalirizo ebya siniya ey’okuna omwaka oguwedde, essomero lya Ibun Hamis lyerimu kumasomero agakoledde ddala obulungi mu district eya Wakiso.

Abamu kubayizi b’essomero lya Ibun Hamis Islamic secondary school e Kigoggwa Matugga waggulu nga bajaganya oluvanyuma lw’okuyita obulungi ebigezo bya s.4 ebifulumye olwaleero. Okuva ku kkono ye Masuba Amiinu Mudathiru 24, Muwawu Yunusu Salim 32, Najima Kasirye 23, ne Basirika Husina 34, wano bababadde nabasomesa babwe nga bebaza Allah olw’ekkula lino.
Omukulu w’essomero lya Ibun Hamis islamic ss Yawe Ismail yebaziza nnyo Allah olwobuwanguzi bwebatuukako buli mwaka mu bbanga lyebamaze mukisawe ky’ebyenjigiriza. Asiimye nnyo enkola ya E- Learning eyaletebwa ku somero ebayambye ennyo okufuna abasomesa abakugu nga bayitira kumitimbagano abayizi nebasobola okufuna eky’enjawulo munsoma yabwe. Agambye nti nga ojjeeko okola obulungi mubigezo bya UNEB, nemuby’eddini bebalya empanga buli kiseera. Asabye abazadde okwetegereza ennyo amasomero gebatwalamu abaana kubanga ensi etabanguse nnyo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *