Aba kampuni ezikola sukaali balabudde ku bbula lya sukaali eryolekedde Uganda olw’ebikajjo ebitono ebiri mu balimi.
Aba kampuni ezikola sukaali balabudde ku bbula lya sukaali erijja mu uganda olwebikajjo ebitono ebiri mu balimi nga bagamba nti okutandika n’omwaka ogujja uganda yaaliwalirizibwa n’okugula sukaali okuva mu mawanga amalala.
Bino bituukiddwako bano bwebabadde basisinkanye akakiiko ka Palamenti akavunanyizibwa ku by’obusuubuzi aka (trade) okunyonyola ku kwemulugunya okuzze kuva mu balimi be bikajjo nga wano ssentebe womukago ogutaba abakozi ba sukaali Mwine Jim Kabeho wanyonyoledde okusomooza okutali kumu okuyinza okuvaako kanaluzaala we bbula lya sukaali mu ggwanga lyattu.
Abalimi bebikajjo bagambye nti engeri amakampuni agakola sukaali gyegagerekamu emiwendo gyegagulirako ebikajjo byabwe mbi ddala era nga ebanyigiriza ekisusse era bano nga bakulembedwamu Robert Atugonza babuulidde akakiiko engeri abasiga nsimbi bano gyebabanyigirizaamu nokutuusa okubakyaya obulimi bwebikajjo.
Ebizibu ebitali bimu ebinyigiriza abalimi bebikajjo ate na bamakampuni byebyawaliriza omubaka we Nakifuma hon. Fred Ssimbwa n’omubaka we Bbaale hon. Charles Tebandeke okuleeta okwemulugunya eri palamenti okugonjoola ebizibu byonna
Ssentebe wa kakiiko hon. Mwine mpaka agambye akakiiko kakyagenda mu maaso nokwekennenya ensonga zonna.
Bya Namagembe Joweria