Politics

Aba Mbogo Mixed SS basabidde abagenda okola ebigezo bya UNEB

Ng’abayizi abali mubibiina eby’akamalirizo beetekerateekera okukola ebigezo byabwe basabiddwa okwekiririzamu wamu n’okwesigamira omutonzi wabwe Allah kubanga yeyekka asobola okubavvunusa kyebagendamu.

Omulanga guno eri abayizi gubakubiddwa omusomesa omukugu mumateeka g’obusiramu (Sharia)okuva kuttendekero ly’obusiramu erya Islamic University in Uganda Sheik Hussein Ali Bulafu nga yabadde omugenyi omukulu ku somero lya Mbogo Mixed Secondary School e Kawanda Nakyesanja mu district ya Wakiso,kumukolo gw’okusabira abayizi ba S.4 ne S.6 abanatera okutandika ebigezo byabwe. Abayizi ba S.4 bakutandika ebigezo byabwe kulwokutano luno nessomo lyokubulirirwa olwo ku bbalaza batandike okuwandiika ebigezo byabwe mubutongole.

Sheik Hussein Ali Bulafu akutidde abayizi okweyisa obulungi mubuli mbeera wamu nobutefuula bakitalo nnyo kubanga ensi erimu ebisomooza bingi kumuntu ateyisa bulungi. Abagambye nti emize mingi egiri kumitimbagano balina okujewala kubanga bangi kubamusaayi muto bononekeddeko.

Akulira essomero lya Mbogo Mixed Secondary School Kawanda Dr. Al hajji Abdul Hamid Lumu agambye nti eduwa nga zino ziyambye nnyo abayizi babwe okola obulungi buli mwaka, Dr Haji Lumu akutidde abagenda okola ebigezo okwesigamira Allah mubuli mbera.

Abawadde amagezi okwesamba emize egiri kumitimbagano kubanga gyononye abantu bangi nokumanya enkozesa entufu eyemitimbagano.

Mungeri yemu asabye abazadde okulondoola abaana babwe muluwummula baleme kwononekeramu olw’empisa ezisiwuuse mubantu.

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *