Politics

Aba Open Space basisinkanye abakwatibwako ebyokulonda.

Ekitongole kyobwanakyewa eky’ababuvubuka ekya Open Space Center kitongozza enteekateeka etuumiddwa “Strengthening Youth Civic Participation” nga eruubiridwamu okutema empenda kungeri abavubuka gyebayinza okwenyigira buterevu muby’obukulembeze kumitendera egyenjawulo mugwanga nga tewali mutawaana wadde emiziziko gyebasanze. Kampeyini eno yakumala emyaka 3 nga abantu basomesebwa kubulabe obuli mubuvuyo obubaawo oluvanyuma lwokulonda nemubiseera bya kampeyini z’okunonya akalulu.

Ensisinkano eno eyindidde ku Eureka Hotel E Ntinda mu Kampala nga yetabyemu aba Open space,abakungu abebyokwerinda,abakungu abakakiiko kebyokulonda,abakulembeze babavubuka,abebibiina by’obwanakyewa nabalala.

Omugenyi omukulu abadde omubaka wa bavubuka okuva mubuvanjuba bwa Uganda Hon. Benard Oneni Odoi nga asabye abavubuka okwenyigira mukulonda amalobozi gabwe gasobole okuwulirwa. Yeyamye okukolaganira awamu naba Open Space okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Ashiraf Sharaf Kakaire omukwaganaya w’emirimu mu kitongole kino ,asabye abavubuka okuwa akalulu kabwe ekitiibwa nga balonda abo bokka abagenda okola kunsonga zabwe. Abakalaatidde obutenyigira mukalulu nga ekinyumu wabula bategere ekinyusi kyakalulu.

Bino webijidde nga okulonda okuzze kuberawo ebbanga lyonna kweyolekeramu obuvuyo obuviirako abamu kubavubuka okufiirwa obulamu,okusibibwa mumakomera n’okufuna obuvune. Ensisinkano eno ejidde mukaseera nga esigadde ebbanga ttono okutuuka kukalulu kabonna aka 2026 akabindabinda.

Ebitundu ebinokoddwayo ebisinga okuberawo obutabanguko bwokulonda g’emasekati ga Uganda netundutundu lya Rwenzori.

By Ismail Tenywa Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *