Aba Rich Dad Junior School bolesezza ebikwata kuddiini.
Libadde Sanyu gyereere kusomero lya Rich Dad Junior Schools ettabi lya Kawempe Mbogo abayizi bwebadde boolesa ebitone ebyenjawulo ebikwata kuddini yabwe.
Abayizi boleseza ebitoone omuli okusoma Quran, okukwata Hadith,okwogera oluwarabu,ebibuuzo Ebikwata kuddiini nga babyanukulirawo,okuzanya emizannyo egyiyigiriza n’okuyisa obulungi abakadde,emisono gyeddini busiramu nebirala.
Mungeri yemu nabayizi aba Top class abagenda mukibiina ekisooka nabo batikkiddwa mungeri eyenjawulo.
Omugenyi omukulu abadde sheik Abubaker Musoke omusomesa omukugu eyawummula munnamula yobusiramu neneyisa era mububaka bwe akalatidde abazadde okulondanga amasomero agagatta kubaana mumbeera yeddiini wamu nebyensi.
Asiimye omutandiisi wamasomero ga Rich Dad Junior Schools e Najjanankumbi ne Kawempe Mbogo Hajji Twaha Lubega Yiga olwokufuna ekilowoozo ekikola essomero eriri kumutindo kati ogw’ensi yonna eliyambye okutambuza ebintu ebiri kumutindo omulungi. Sheik Musoke era asabye abazadde okulera abaana obulungi nga babakubiriza okutya katonda.
Hajjat Aidah Nammanda akulira Rich Dad Junior school Kawempe campus agambye nti olunaku luno olwa annual theology day babera nalwo buli mwaka okusobola okuzuula abana byebasobola okola ebweru webibiina kubanga nakyo kyamugaso nnyo mubulamu bwabana.
Hajji Twaha Lubega ‘Director’ wa Rich Dad Junior Schools asiimye abazadde ababawadde abaana nabasubiza nti sibakuddirira mubyensoma kunjuyi zombi.
Ono alaze nti bbo batuunulira okufulumya omwana omusiraamu ajudde nga agasa ensi yona.
Bya Tenywa Ismail Idirisa.