Abaafiirwa abantu n’amayumba e’ Kiteezi bakyalajana.
Oluvanyuma lwa gavumenti okuggalawo ekifo ewaali wakungaanidde abantu abakosebwa enjega eyagwaawo e’Kiteezi kasasasiro bweyabumbulukuka nagwiira amayumba wamu n’abantu,abakosebwa enjega eno negyebuli eno bakyawanjaga nga betaaga okuyambibwa.
Bano bagamba nti gavumenti erudewo okubaliyirira amayumba gabwe wamu n’ebintu byabwe nga nabwekityo tebamanyi kyakuzaako.
Abenganda z’abo abafiira mu kasasiro negyebuli eno bakyakonkomalide gyebali nga balinda oba walibaayo esuubi okubaliyirira.
Abalala tebamanyi kyakuzaako wakati mukuteeka esuubi lyabwe eri mungu.
Bano bagamba nti ssente gavumenti zeyabawayo obukade obubiri okupangisa amayumba zali ntono nnyo era zaggwawo dda.
Wano councillor omukyala akiikirira Kasangati Town Council ku lukiiko lwa District ya Wakiso Juliet Nanteza, alaze obwenyamivu olwa gavumenti obutaba nanteekateeka nungamu kunsonga zokuyamba abantu be kiteezi.
Kati abantu bonna abaakosebwa badukiriddwa ekibiina ekya Mable Women and Children’s Foundation n’ebintu ebyenjawulo okuli sukaali,obuwunga,ssabuni wamu ne ssente enkalu okubayamba okuyita mukiseera kino kyebalimu ekizibu.
Okusinziira ku Ruth Kitamireka ono nga yakulira ekibiina kya Mable Women and Children’s Foundation ategezeza nga bwebasazewo okuduukirira abakyala bano kubanga baanyigirizibwa nnyo munjega eyaggwa e kiteezi.
Bya Mukasa Fred Kiku.