Abaana abajjibwa kunguudo tebalina buyambi – Hon. Nakut.
Omubaka omukyala owa Napak Hon. Nakut Faith yekubidde enduulu mu palamenti nga ayagala gavumenti ebakwasizeeko ku baana bebajja ku nguudo mu biseera by’enkungaana okuli olwa NAM, CSPOC ne G77 nekigendererwa ekyokulabisa obulungi ekibuga kampala nga abagenyi bajja.
Ono agambye nti bakwasizaako gavumenti okutambuza abaana bano abali eyo mu 425 nebatwalibwa e Masuuliita mu masomero 3 nga okuva kwolwo bannanyini masomero gano bebabadde balabilira abaana bano naye nga kati batuuse webakoma kubanga kati abaana tebakyalina kyakulya, embeera yobulamu bwabwe teyeyagaza olwebyobujanjabi ebitali birungi kale nga akadde konna abaana bano bayinza okukusibwa nebatwalibwa mu mawanga sinakindi okuddukayo nebakomawo ku nguudo ze kibuga Kampala.
Ono agambye nti minisitule yebyenjigiriza yavuddeyo netegeza nga akadde konna bwegenda okugoba ebisulo mu bitundu bye Karamojja kyagambye nti kigenda kukosa abaana bano kubanga bajja kubeera mukatyabaga k’okukukusibwa singa banasangibwa nga batayaaya.
Nakut agambye nti kyannaku nti abaana bano bali mu mbeera mbi nga kyokka bawandikidde bekikwatako bonna okuyamba abaana bano naye tebafuna nga kuddibwaamu nga kyokka tebetaaga kubata kugenda muluwummula kubanga bayinza okukukusibwa nebakomezebwaawo ku nguudo.
Wabula minisita omubeezi owebyenjigiriza ebisokerwaako Dr. Joyce Moriku Kaducu agambye nti ensonga lwaaki e Karamoja amasomero agasinga abayizi bava waka kwekuba nga eno tebalina bisanyizo byetagisa kubeera Nabisulo ekintu omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa kyagambye nti ssi kyebetaaga wabula betaaga mbeera eyinza kubasobozesa okukuumira abaana bano mu masomero nga wano minisita wasinzidde nasaba okumuwa okutuusa sabiiti ejja aleete alipoota eyinza okuyamba ekitindu kino.
Ku lwa gavumenti omumyuuka wa ssabaminisita owokusatu Rukia Nakadama Isanga ategezezza nga gavumenti bwegenda okusitukiramu amangu ddala okulaba nga bayamba abaana bano kubanga balina kukuumiirwa nga bali mu masomero.
Bya Namagembe Joweria