Politics

Abaana abawala mwekuumire mumasomero okwewala embuto nga temunetuuka.

Mukawefube owokumalawo omuwendo gw’abaana abafuna embuto ngatebanaba kwetuuka, abaana abobuwala baweeredwa amagezzi okwekuumira mumasomero kibayambe obutenyigira mubikolwa ebibasindiikiriza okufuna embuto .

Obubaka buno bubawereddwa ekitongole ky’obwannakyewa ekya Marie Stops ngabasinzidde mumusomo nebannamawulire mwebasinzidde okubasomesa kungeri jebayinza okuyambako okumalawo omuwendo gw’abaana abafuna embuto ngatebanaba kwetuuka ngabayita mungeeri jebawandiikamu amawulire gabwe , okwogera kunsonga eno ,omuli okumanyisa eggwanga akabi akali mubaana abobuwala abafuna embuto ngatebanaba kwetuuka .

Bano okwogeera bino nga omuwendo gw’abaana abawala abafuna embuto ngatebanaba kwetuuka guli waggulu nnyo naddala mubitundu byomubyalo okuli mubitundu bya Busoga ,Kalangala saako newalala.

Arinaitwe Sandra akulira eby’amawulire mukitongole kya Marrie Stops asabye abaana abawala okwewala ebiyinza okubasindiikiriza okuzaala ngatebanaba kwetuuka olwakabi akakirimu, omuli okufuna edwadde ,okulemererwa okumalako emisomo jabwe saako nokufuna ekyirwadde kya fisitula.

Era ono agenze mumaaso nasaba abaana abobuwala okutukirira abo ababasingako, omuli n’ekitongole kya Marrei Stops webabeera nga balina byebagala okumanya naddala ebibakwatako basobole okuyambibwa.

Omusomo guno guyindidde ku ‘Hotel’ ya Protea Naguru Skyz nga gwetabyemu abamawulire abasaka amawulire agakwata kubyobulamu okuva mubitongole ebyenjawulo.

Ate ye akulira ekibiina ekyigata bannamawulire abasaka agebyobulamu ngabegattira mukibiina ekyibatwala ekya Health Journalists Network Uganda HEJN Esther Nakkazi awanjagidde gavumenti okwongera okuteekawo enteekateeka eneyamba abaana abobuwala ababeera bafunye embuto ngatebanaba kwetuuka kibayambe obutasigalira mabega .

Era ono akubirizza n’abazadde okubeera abasaale mukukuuma abaana babwe ngabayita mukubalambika kibayambe okwekuuma ngatebafunye mbuto basobole okumalako emisomo jabwe.

Bya Bulyaba Hamidah

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *