Ababaka bemulugunya lwabaminisita kwebulankanya
Ababaka ba palamenti baloopedde omumyuka wa sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa obuzibu bwe basanga okulaba ba minisita ku nsonga ez’etaaga okunogerwa eddagala omuli okubanoonya mu ofiisi nga tebaliiyo nga ne bwe babawandiikira obubaka tebayanukulwa .
Kyaddiridde omubaka Allan Mayanja owe Nakaseke Central mu kaseera ak’okwanjizaamu ensonga ez’enkizo okwemulugunya ku buwumbi 93 obwewolebwa mu banka y’obusiramu eya Islamic Development Bank mu 2017 n’ekigendererwa eky’okukola oluguudo lwa Butalangu -Kiwoko nekitakolebwa.
Mayanja agamba nti abantu abawangaalira mu bitundu ebyo batandise okwemulugunya era nga baagala gavumenti ennyonnyole.
Wano nampala wa gavumenti Hamson Obua mukwanukula , ategeeza nti ensonga ajakugituusa eri minisita akwatibwako.
Ababaka baagenze maaso nebategeeza nti ba minisita basusse okwebalama entuula za palamenti so nga babeera baagala okwanukula ku nsonga zaabwe kubanga nabo abalonzi babateeka ku nninga era nga omubaka we ssaza lye bbaale Charles Tebandeke atuuse n’okusaba aweebwe olukusa aleete ekiteeso mu butongole ku bo kiteesebweko.
Ye omubaka Jonathan Odur owe Erute South mukuweebwa omukisa ategezeza nti emitendera egigobererwa eri omuntu alina ensonga asooka kugiteegeeza sipiika n’eweebwa ekifo era nga kyasuubira ne minisita agivunaanyizibwako ategeezebwa,
Kyokka emirundi mingi ng’omuntu afubye okunoonya ba minisita omuli n’akulira eby’enjigiriza ebyawagguli J.C. Muyingo nga yatuuka mu ofiisi zaabwe nga tebaliiyo, nawandiika ebbaluwa natayanukulwa nga ne bweyasindika obubaka mu messegi era tewaali njawulo.
Kino kyatanudde minisita w’ebyamawulire, Tekinologiya n’okulungamya eggwanga Chris Baryomunsi n’asaba Odur okukomya okwogera bwatyo kubanga ajakuleetera abantu abagoberera palamenti okulowooza nti ba minisita tebakola buvunaanyizibwa bwa bwe,
Era namusaba aleme okubazingira awamu wabula abeere mwerufu anokoleyo beyali anoonyezza nebamubula okusinga okubazingiramu bonna gyooli tebawa kitiibwa palamenti.
Ngeno gyetegeerezza nti abamu kubeyali anoonyezza bali mu lukiiko lwerumu bamutunulidde okuli ne minisita Muyingo ekyasesezza babaka banne.
Eyaliko minisita omubeezi w’abavubuka n’abaana Felix Okot Ogong yagambye nti sipiika yetaaga okubaako kyakolawo kubanga mu biseera bye yali minisita balina enkola nga minisita atasukka bitundu 30 ku buli 100 mu mpeereza ye ng’alabulwa era olw’obujumbize yakifunamu n’ekirabo.
Tayebwa yagambye nti erimu ku teeka mu mateeka agafuga palamenti liragira ba minisita bonna okujumbira entuula za palamenti ng’ekizibu kyasanzi eteeka teriraga bibonerezo eri oyo atazibeeramu
Era neyebaza abo abatuukiriza obuvunaanyizibwa bwa bwe okuli munisita omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musasizi, omumyuka wa katikkiro wa yuganda ow’okusatu Rukia Nakadama , minisita wa gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi n’abalalaa.
Bya Namagembe Joweria