Politics

Ababaka mumanye wemukoma mu Palamenti- Tayebwa aboggodde

Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu RT. Hon. Thomas Tayebwa avuddemu omwasi ku babaka ba engeri jebalina okwambalamu nga bali mu ntuula za palamenti wamu n’obukiiko bwayo.

Bwabadde aggulawo olutuula lwa palamenti akawungezi ka leero, ono agambye nti ababaka begumbulidde omuze gwokwambala nga bwebasanze ekintu ekityoboola ekitiibwa kya palamenti.

Mungeri yemu ono akoze okulabula okwomuggundu eri ababaka abasemberera entebe ya sipiika naddala nga olutuula lugenda mu maaso, nga ono agambye nti okujjako abantu 3 okuli ssabaminisita wa Uganda, akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti ne nampala wa gavumenti nga abasigadde balina kumuwandiikira , kubanga nabamu bamubuza buza.

Bino webijjidde nga eggulo ababaka abenjawulo okuli Hon. Zaake Francis Butebi ne Hon. Betty Nambooze Bakireke basemberedde entebe eno nga balaga obutali bumativu bwabwe ku ngeri jebayimiriziddwamu obutetaba mu ntuula za palamenti 3 nababaka abalala 3.

Mubuufu bwebumu ono aliko ebiragiro byayisiza ebitekedwa okugobererwa ababaka ba palamenti bonna nga bali muntuula zayo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *