ABABAKA TEBAGALA KUGENDA KOLOLO MUSEVENI GYAGENDA OKWOGERERA
Palamenti elaze obutali bumativu kubukwakulizo obutekebwawo buli omukulembeze w’eggwanga Yoweri kaguta Tibuhaburwa Museveni bwaba agenda okubasisinkana n’okwogerako gyebali.
Ssabiitii ewedde Sipiika wa palamenti Annet Anita Among yategeeza Palamenti ng’omukulembeze w’agenda okusisinkana ababaka ba palamenti kukisaawe e Kololo kulwokuna lwa ssabiiti eno ng’era ababaka bonna balina okwekebeza ekilwadde Kya Covid- 19.
Omubaka wa Kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda yasoose okuyimuka mu Palamenti nategeeza Sipiika nti ng’ababaka bakooye obukwakulizo obubateekebwako buli omukulembeze w’eggwanga lwaba agenda okubasisinkana omuli okubakebezanga Covid-19,okubajjanga mukifo kyabwe mwebalina okubeera nebatwalibwa e’Kololo nemumaka ga Pulezidenti Entebe.
Mungeri yeemu omubaka Twesigye Nathan Itungo akiikirira abantu be Kashari South agamba ababaka balina ebibuuzo bingi ebyokusoya omukulembeze w’eggwanga nga bwaba takkirize kumusoya tekijja kubakola bulungi newankubadde nga speaker wa palament Anitah Annet Among alabisenga kino atakisembye.
Bya Namagembe Joweria
Sipiika Anita Anet Among mukubanukula agamba ngomukulembeze wabwe yamala dda okusalawo ekifo kye kololo olwobufunda bwa palament ngate negyebalaga e Kololo kifo kyaggwanga nganolwensonga eyo tebasanye kweraarikirira.