Ababba wwaya n’ebyuuma by’amasanyalaze bubakeeredde gwebakwatako kkomera
Minisitule ekwasaganya ebyamasanyalaze n’obugagga obwo’muttaka erabudde abo abenyigira mu kubba waya ne’byuuma by’amasanyalaze okukikomya bunambiro kuba oyo yenna anakwatibwa kakumujuutuka olwo kwenyigira mu mizze egizza eggwanga emabega.
Minister omubeezi owe’byamasanyalaze Okasai Sidronius Opolot asinzidde mulukungana lwa bannamawulire ku Media centre mu Kampala nategeeza nga omuzze guno ogw’okubba waya za masanyalaze n’ebyuuma bwegukyaase enyo ensangi zino nga kino kiviiriddeko egwanga okufiirwa obutitimbe bw’ensimbi.
Ono agambye nti beetegese ekimala okulaba nga omuzze guno gutuulwa Ku nfeete kuba oyo anaakwatibwa n’ebyo ebinaaba nga bibbidwa wakukwatibwa avunaanibwe, nga singa gumusinga wakusibwa oba okusasula ensimbi eziri mu kawumbi
Minister ategezeza nga bwekiri ekyobulabe okuzannyira ku masanyalaze kuba gaabulabe agasobola okusanyawo obulamu bw’omuntu nakubiriza abantu bonna obutamala gazannyira Ku masanyalaze.
Bya Ali Ssewanyana