Abafumbo mwesigangane mukulakulane- Minisita Namuganza.
Minister Hon. Persis Namuganza abuuliridde abafumbo.
Minisita omubeezi ow’ebyettaka, amayumba n’ebibuga era omubaka wa Bukono mu palamenti Hon. Omumbejja Persis Namuganza asabye abafumbo okwesigangana n’okussa ekimu okusobola okutuuka kubuwanguzi n’ekunkulakulana.
Minister Namuganza okwogera bino asiinzidde Naluvule Wakiso bwabadde omugenyi omukulu kumukolo Hajjat Faridah Kirabo owa One Ummah Uganda kwafumbiriganiddwa ne Nkuubi Muhammad.
Minister Namuganza agambye nti government ebeera ngumu abantu bonna b’ekulembera bwebaba mu mirembe. Omumbejja Namuganza era asabye abafumbo obutekkakanya n’okukulembeza Katonda mubuli kimu.
Agambye nti obufumbo kuba kubererawo munno mumbeera zonna. Ono takomye okwo asabye abagalana okugenda mubazadde bazaalibwe mungeri entuufu etaliimu kawundo kakubye eddirisa.
Mububaka bwe District kadhi wa wakiso era Ssenkulu wa Umoja Helping Hearts Sheik Elias Kigozi akuutidde abawoweddwa okwesigamira Allah mubuli kimu obufumbo busobole okuberamu emikisa nemirembe.
Elias era asibiridde abavubuka entanda okuwasa nga bakyaali bato okwewala okugwa mu nsobi n’okugumikiriza mubuli kimu kubanga obufumbo bujudde ebisomooza n’ebisanyusa bingi..
Omukolo guno gusombodde abebitiibwa bangi omuli ,omubaka omukyala owe’Yumbe Avako Nayima, Country Director wa One Ummah Dr. Hajjat Shania Kigozi,omubaka omukyala owa Kazo Hon. Jenipher Muheezi,Director wa Al Ihisaan Education Center Sheik Abdul Wahab Muyomba, akulira abakyala ku Umsc Sheikhat Radhia Namakula,munnamawulire Faridah Nakazibwe nabalala bangi.
Bya Ismail Tenywa