Politics

Abagenda okukola ebigezo mu Wakiso basabiddwa.

Sheik Elias Kigozi asabidde abagenda okola P.L.E mu Wakiso.

District Kadhi wa Wakiso Muslim District Council Sheik Elias Kigozi Nkagi asabidde abayizi bonna abagenda okukola ebigezo bya P.L.E okutandika ne sabiiti egya.

Emikolo egy’okusabira abayizi ba wakiso bonna wamu nabali mu ggwanga wonna guyindidde kusomero lya Wakiso Muslim Primary School mu Wakiso mu town nga eduwa ekulembeddwamu district kadhi yenyinni.

Mu bubaka bwe eri abayizi bano Sheik Elias Kigozi abasabye okwesigamira Allah wamu n’okwekiririzamu okusobola okuyita obulungi ebigezo byabwe. Abasabye okwejjamu okutya kubanga buli kimu kisoboka awali Allah. Abayizi abasoba mu 1000 bebetabye kumukolo guno ogwa Duwa okuva mu Wakiso yonna. Sheik Kigozi akalatidde abazadde ebigezo bwebiba biwedde nga abayizi bakomyewo ewaka okubayigiriza emirimu gyewaka n’obutabaleka kutayaya kuyiga mizze mikyamu.

Yye Ssentebe w’abasubuzi mu wakiso yonna era ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’esomero lya Wakiso Muslim Primary School ewabadde duwa eno Alhajji Ashiraf Kironde asiimye nnyo abazadde abewaddeyo okusomesa abana eddini n’ebyensi nabasaba obutapondooka kubanga okusomesa omwana omuzadde kyekyokka kyasobola okuwa omwana munsi muno ekinamugasa olubeerera.

Hajji kironde ono asabye abazadde okuwagira amasomero gabwe ag’obusiramu nago okusobola. Omukolo guno gwetabiddwako abantu abenjawulo omubadde n’omusubuzi wa wakiso omututumufu Hajji Haruna owa S.H Family Hardware nabalala.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *