Abamazeeko Quran ewa Sheik Tazan basiimiddwa.
Amyuka Mufuti wa Uganda owokubiri His Eminence Dr. Hafiz Muhamad Haruna Bukenya akalatidde abazadde okubaako byebayigirza abaana babwe muluwumula luno ng’akamu kukabonero kokubakuuma nga bali kumulamwa.
Obubaka buno Dr. Hafiz Bukenya abuwadde bwabadde omugenyi omukulu kukyalo Mpererwe Kizannyiro mugombolola ye’Kawempe,mumaka ga sheikat Hajjat Rahmah Muhamad Kiryowa maama wa Sheik omusomesa wa Dawa omwatikirivu Sheik Abubaker Tazan Idirisa,kumukolo ogukoleddwa okwebaza Allah olwokusobozesa abamu kubaana nabazukulu mumaka gano abawerera ddala 8 okumalako Quran entukuvu.
Dr. Hafiz Bukenya agambye nti buvunanyizibwa bwabuli muzadde okusomesa abaana babwe Quran kubanga ky’ekisumuluzo ky’obuwanguzi munsi eno. Dr Bukenya asiimye akensuso Sheik Abubaker Tazan olwakawefube gwataddeyo okusitula famire nga ayita mukusomesa abaana eddiini wamu ne Quran.
Abayizi abamazeeko Quran kuliko Abdul Naswir Abubaker Tazan,Uthuman Zaid,Muhusin Abdul Karim Yiga,Rahma Adam Kyambadde,Rukaiyah Birungi, Abdul Rahman Idirisa,Abdul Shakur Sekiyanja ne Abdul Rahim Yiga. Omwana eyasinga mumapaka za Quran munsi yonna ezali e Kuwait ava mu family eno era naye yomu yomu kubakoleddwa shukur eno okwebaza Allah olwobuwanguzi buno.
Sheik Hajji Abubaker Tazan Idirisa ateeseteese omukolo guno ogwekwebaza Allah okusobozesa abaana babwe okumalako Quran agambye nti omuntu amanyi Quran aba wanjawulo nasaba abasiramu bonna okusomesa abaana babwe ekitabo kino kubanga ensi eyimiriddewo kubantu bamanyi. Asiimye maama wabwe Hajat Rahma Muhamad Kiryowa olwetofaali lyatadde ku Quran ya Uganda.
Ate ye sheik Shakib Sekimwanyi omulangira w’eBukoto Natete akalatidde abamazeeko emisomo obutetwala nga bakitalo basigale nga basoma wamu nokuwa abawalimu bebasanze mukisaawe ekitiibwa olwo babere bawanguzi.
Bya Tenywa Ismail Idirisa