Abasawo abagezesebwa mubasasule-Dr. Atwine
Minisitule y’e by’obulamu eraze okwemulugunya eri minisitule y’ebyensimbi olw’okukola akasoobo mu kukola ku nsonga y’omusaala gw’abasawo abali mukugezesebwa kyegamba nti kyetaaga kigonjoolwe bunnambiro.
Dr.Dianah Atwine omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule eno bwabadde mu kakiiko ka PAC akavunaanyizibwa ku kulondoola ensaasaanya y’omuwi w’omusolo mu gavumenti akakubirizibwa Medard Lubega Sseggona omubaka wa (Busiro County East) agambye nti buli akakiiko k’ebyensimbi lwekalwawo okukola ku nsonga z’abasawo abagezesebwa kabeera kabasuula mu katyabaga.
Annyonnyodde nti, buli mwaka amatendekero ag’enjawulo gafulumya abayizi era nga abasawo bebafuna ababeera ku kugezesebwa okw’omwaka omulamba babeera wakati wa 2500 ne 4000 nga singa akakiiko teketereeza nga bukyali okwekalakaasa kuyinza okufuuka baana baliwo mu minisitule yabwe.
Ababaka ku kakiiko ka PAC nga bakulembeddwamu Suubi Kinyamatama(Mukazi/Rakai) balaze okutya nti akakiiko k’ebyensimbi kandiba nga kafunnye obunafu obutali bwa bulijjo bwebategeezeza nti tebalaba nsonga ebaziyiza kuta ssente z’abasawo bano ate nga z’ateekebwa ku mbaliririra y’ebyensimbi ey’omwaka guno.
Wabula Dr. Atwine ategeezeza akakiiko nga bwe bali mu kaweefube ne minisitule y’ebyenjigiriza, ekola ku nsonga z’abakozi (Ministyr of public service) ne neyebyensimbi okuleeta eteeka erinabalungamyanga ku nsonga z’abasawo abagesebwa n’ekigendererwa eky’okumalawo obwegugungo obubalukawo.
Alaze nti eteeka eryo lyandibadde lyakolebwako emyaka etaano emabega kyoka abasawo bano bwebabakuba mu mbuga z’amateeka buli kimu nekiyimirira kubanga kooti tennawa nsala yaayo
Ssegona alabudde akakiiko k’ebyensimbi okukola omulimu gwako nga bwekisaanidde era nakakasa nga bwebagenda okukola obutaweera okulaba nga abasawo abo basasulwa.
Bya Namagembe Joweria