Abasawo bagenda kussa wansi ebikola singa gavumenti tebongeza musaala
Abasawo abalimu kugezesebwa okuli abamannyo, ebyedagala,abazalisa n’abalala bategezeza nga bwebagenda okussawansi ebikola singa gavt tebongeza musala gwabwe nga omukulebeze we ggwanga bweyabasubiza.
Bano basinzidde mulukungana lwa banamawulire e Mulago mu Kampala nebategeza nga bwebolekera omwezi ogw’okusatu nga tebafuna musaala gwabwe mubujjuvu kyoka nga bakolera mu mbeera ey’obugubi.
Abasawo bano nga bakulembedwamu akulira ekibiina ekitwala abasawo ekya Uganda Medical Association Dr Oledu Samuel bagala abo president Museveni beyalagira okwogeza abasawo omusaala basse mu bwangu ekiragiro ky’omukulembeze ekitali ekyo bavunanibwe okulya mu nsi olukwe.
Ono ayongede n’asaba bana uganda okugoberera ebiragiro ebyasibwawo okuziyiza obulwadde bw’ Ebola nti kuba bulwadde bwabulabe ddala ate obutirawo.
Ate ye akulira abasawo abakyali mukugezesebwa Dr Musa Lumumba ategezeza nti tajja kukiriza abasawo bakulembera kufa njala olw’obutafuna nsako yabwe, wabula olw’okulumirirwa bannauganda basazewo okukola ku bantu abali mu mbeera etalinda gamba nga abagala okuzaala, abaana abali mu kwesika n’abantu abalala abagwa mu kkowo eryo.
Kati mu kiseera kino gavumenti bagiwadde enaku satu zoka okusobola okukola kunsonga zaabwe era nebawanjagira banna Uganda okubayambako bategeze avumenti okuwulira omulanga gw’abasawo nga embeera tenayongera kusajjuka.
Bano bagamba nti president yabasubiza okubaako ensimbi zebasasulwa naye mu kiseera kino balaba teri kanyego.