Politics

Abasoba mu 20 bebakazuulibwa nga bafu e’ Kiteezi.

Webuzibidde nga ngemirambo egisoba mu 20 gyejakajibwa mu kasasiro eyabumbulukuse nabutikira abatuuze bwomu Lusanja Kiteezi abawangaalira mu kifo kino.

Olwaleero lwe lunaku olwokubiri nga ebitongole by’okwerinda wamu n’ekya Red cross bagezaako okufuukuza abantu abafiiridde mu njega eno eyaguddewo olunaku olw’eggulo kasasiro bweyabumbulukuse nabutikira amaka agawerako wamu nabangi okulugulamu obulamu,nga ebimotoka bi wetiiye bikyagendera ddala mu maaso n’okusimulayo emirambo ,era wezitukidde ssawa musanvu ng’egisoba mu 4 gyejakajibwayo okubadde abakyala 3 nga kuno kabaddeko n’omuzito.

Abantu ab’enjawulo balabiddwako nga bakyagenda mu maaso nokusomba ebintu byabwe ebisigalidde ku mayumba agamenyeddwa ebimotoka wakati mu bukuumi obwekitalo.

Bwotuuka mukitundu kino awagudde enjega eno emiranga n’okwazilana byebikwaniriza kyokka ebyekwreinda nabyo binywezeddwa nga tebakkiriza muntu yenna kugezako kusaalimbira mu kitundu kino.

Abamu ku batuuze balaze obutali bumativu olwa poliisi okubagobanya mu kifo kino nga tebanalaba ku bantu baabwe,bano bagamba nti bebamanyi awatuufu awali abantu baabwe kyokka poliisi ebasenza kati Nga bagamba nti amayumba agabutikiddwa gakyali wansi ddala kyokka ebimotoka biri mukufuukuza kasasiro ali ku ngulu.
Bano era era bakayuukidde ekitongole ki KCCA n’abamu ku bakungu baakyo,olwokwefuula kyesirikidde mu wofiisi zaabwe kyokka nga entabwe esinze kuva ku kitongole kino.

Bagenze mu maaso nebatabukira ministule ekola ku biggwa tebiraze nebibamba olwobutabafaako Nga basuze mu njala n’okutuusa kati tebanafuna kyakulya.


Ye amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala ne mirirano Patrick Onyango asiimye omulimu ogukoleddwa abavuzi be bimotoka,nebitongole byokwerinda kyoka n’asasiira ne famire eziviriddwako abantu baabwe n’asaba abatuuze abatanalaba ku bantu baabwe okubeera abakkakamu bagumukirize kuba omulimu guno gukyagendera ddala mu maaso.

Ku Kya bantu abawonyewo nabo abasenguddwa mu kifo kino, ategezeza nti gavumenti ng’eyita mu ofiisi ya ssabaminisita ne kitongole ki Red cross battadewo tenti ezekimpatiira ku kisaawe kya Kiteezi church of Uganda webanasinziira okubawa obuyambi.

Julius Katongole omukubakulembezze mukitundu kino asabye gavumenti wabeerewo embeera yokuliyirira abantu abakoseddwa.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *