Abavubuka babanguddwa mukuziyiza obumenyi bwamateka- UMYDF
Ekitongole kya Uganda Muslim Development Youth Forum kitegese olukungaana lw’abavubuka olw’okukubaganyizamu ebirowoozo ku ngeri y’okutondawo obutebenkevu n’emirembe mubavubuka.
Abakulembeze babavubuka okuva mu Kampala omuli Kawempe,Rubaga,Makindye, Kampala central,Nakawa n’ewalala nga abasinga obungi kubbo ba kansala bebabanguddwa ku ngeri y’okuzimba emirembe n’obutebemkevu mu bitundu ebyenjawulo.
Ensisinkano egalawo omwaka eno etegekeddwa kukitebe kya Uganda Muslim Youth Development forum e Mengo Kisenyi nga etereddwamu ssente ekitongole kyobwanakyewa ekya Finn Church Aid.
Laila Zubair nga ye ‘senior programs manager’ mu kitongole kya Uganda Muslim Youth Development forum agambye nti abakulembeze ababanguddwa bakuyambako mukizimba emirembe n’okumalawo ebisomooza abavubuka nga bakolaganira wamu n’abakulembeze kumitendera egyenjawulo.
Agambye nti ekimu kubirubirirwa kwekuzimba obwesigwa wakati wabakulembeze n’abavubuka olw’ensonga bakizudde nga abavubuka n’abakulembeze buli omu teyesiga munne ate nga awatali nkwatagana tewabera nkulakulana etukibwako.
Laila Zubair agambye nti munsisinkano eno era bavuddeyo nekiwandiiko kyebatuumye Youth Policy Paper ekigenda okugabanibwako n’abakulembeze abenjawulo kungeri abavubuka gyebalaba gyebayinza okuzimbamu emirembe mu Uganda era kyakuwebwako n’abakulembeze babavubuka okukyibunyisa. Ekitongole ekya Finn Church Aid kitakabanira okuzimba abavubuka bonna okulaba nga eddobozi lyabwe liwulirwa nokwetaba obuterevu okuteseza eggwanga lyabwe.
Laila Zubair agambye nti abavubuka abasinga wano mu Uganda banyomebwa era tebawebwa mwaganya ate nga basobolera ddala okuntandawo emirembe kubanga bebasinga obungi.
Bya Ismail Tenywa