Abawangaala nakawuka kamukenenya bandifuna ku ssanyu
Bannayuganda abawangaala nakawuka akaleeta mukenenya bandifuna akamwenyumwenyu oluvanyuma lw’abakugu mukunonyereza kundwadde ezitali zimu okutandika okunonyereza kudagala eriwonya akawuka kamukenenya .
Okusinziira kubakugu banno okuva ku Makerere University Walter Reed Program ngabakulembedwamu amyuka akulira ekitongole kino Dr. Betty Mwesigwa ategezezza ngabwebabakanye nokunonyereza kudagala lino erisobola okuwonya akawuka kamukenenya ngabali wamu nabakugu abalala okuva mu Joint clinical research centre saako nabakugu abalala okuva mumawanga agatali gamu.
Dr. Betty ategezezza abamawulire nti mukunonyereza kuno beyambisa ebintu ebyenjawuluo omuli obusanjabavu obukwata abantu banno abalina akawuka kamukenenya ,omusaayi n’amazzi gebabajja kumigongo ,banno bagamba newankubadde eddagala eririwo kati abantu banno lyebamira lisobola okutta akawuka kano mumubiri naye waliwo ebitundu byeritatuukamu ngakino kyeyolekera mukaseera singa omulwadde arekerawo okumira edaggala obuwuka buvaayo jebuba bwekwese nebutandika okusaasanira mumubiri ku sipiidi eyawaggulu olw’esonga buzaala ku misinde mingi ddala.
Kati Dr. Betty agamba balwana bwezizingirire okulaba nga bafuna edagala abalina akawuka lyebasobola okumira nga litta akawuka wonna wekaba kekwese munda mumubiri .
Bino abakugu banno babyogeredde mumusomo ogutegekeddwa ekibiina ekitaba abasasi bamawulire agakwata kubyobulamu ekya Health Journalist Network in Uganda ogubadde wano kukitebe kyabwe ekisangibwa e’Kamwokya.
Wabula Dr. Betty agenze mumaaso nategeza ngabwebasanga okusomozebwa mumulimu guno omuli okubeera nga ensimbi ezikozesebwa zebalina ntono nyo kumulimu ogwetegisa sako nokubeera nti abasawo abali mu ggwanga abakugu mumulimu gw’okunonyereza kundwadde bakyali batono.
Ye omu kabawangala nakawuka kano akamukenenya ngeera amazze nako emyaka 34 Moses Nsubuga amanyidwa nga Super Charger asabye gavumenti okutekawo enkola eyomuggundu eri abasawo bamanyise abalina akawuka kano kudagala lyebamira banyonyolebwe bulunji omugaso gwalyo .
Super Charger agamba bawangalira kubika byedagala ebyenjawulo kyoka buli kika kirina omugaso gwakyo kyoka ekyenyamiza wesanga nga abalwadde abamu belobozamu edagala lyebaagala okumira olwobuzibu bwebalisangamu, nga okubakyuusa mumbeera zabwe, ekintu ekyobulabe olw’esonga lyona edagala lyebamira lirina omugaso nomulimu gwerikola.
Bya Bulyaba Hamidah