Politics

Abayizi abasoba mu 5000 bebagenda okutuula ebya IPLE.

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo by’abasiramu ekya Islamic Primary Leaving Examinations, (IPLE), kifulumizza ennambika enaagobererwa mu kuwandiika ebigezo ebyakamalirizo omwaka guno, ebitandise okwetolola eggwanga lyonna, n’omulanga eri gavumenti okukwasizaako ekitongole kino mu kubiteekateeka.

Abayizi abagenda okutuula ebigezo bino omwaka guno bali 5,255 nga bakubituulira mu bifo 291 okwetoloola eggwanga lyonna.

Sheik Ismail Kazibwe Kitiibwa, ssabawandiisi w’ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo bino ekya IPLE ku kitebe ky’obusiramu ekikulu ekya Kampala mukadde, agambye nti amasomero olwaleero galina okuyisa abayizi mu mateeka geebibuuzo.

Kazibwe agambye nti bamazze n’okutuusa ebibuuzo ku poliisi ez’enjawulo mu ggwanga, abakulira amasomero gyebagenda okubikima okutandika enkya ng’abayizi bakutandika n’essomo lya Quran entukuvu, era alabudde ne ku bubbi bwebigezo.

Hajji Abbas Ssekyanzi Mulubya, ssabawandiisi omugya ow’ekitebe kya Uganda Muslim Supreme Council, (UMSC), asinzidde wano, naawanjagira gavumenti okukwasizaako obusiraamu mu nteekateeka eno n’okusomesa abaana ediini.

Avumiridde n’ekyokukwatibwa kwabasiraamu nga basomesa ediini nebabasibako emisango gyokwenyigira mu kusomesa obutujju.

Mungeri yeemu Juma Bahit Cucu, akulira ebyenjigiriza ku kitebe ky’obusiramu asabye abakulu mu ministry yebyenjigiriza okukwatagana nekitebe ky’obusiramu ku sirabaasi y’ebisomesebwa mu masomero g’ediini naddala aga Madarasa.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *