Politics

Abayizi ba Joweria Islamic junior school temuleka kusoma- Sheikh Ssendijja.

District Kadhi wa Entebbe Muslim District Sheik Sulaiman Farouk Ssendijja akalatidde abagenda okutuula ebigezo byabwe okubeera n’obwesige mu Allah basobole okutuuka kubuwanguzi.

Sheik Ssendijja okwongera bino asinzidde kusomero lya Joweria Islamic Junior school and Quran Memorisation center e’Ndejje Kibutika mu district ya Wakiso bwabadde omugenyi omukulu kumukolo gw’okusabira abayizi b’ekibiina eky’omusanvu nga bagenda mu bibuuzo ebitandika sabiiti ejja.

Sheikh Sendijja agumiza abayizi bonna okwejjamu okutya kubanga bwebateka obwesige mu Allah ajjakubajukiza nokubawa obuvumu obukola ebigezo bino obulungi. Asabye abayizi okweyongerayo n’emisomo oluvanyuma lw’eddaala lino kubanga okusoma tekukoma.

Omukolo guno gwetabiddwako ssentebe w’ekitongole ekigatta ebibiina bya Hijja ekya Federation of Uganda Hajj Bureau Sheik Zakariya Kyewalyanga wamu ne Ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo by’eddini muggwanga era omukulu w’ettwale lya makindye ssabagabo sheik Ismail Kazibwe Kitibwa nga ono akalatidde abazadde okusomeseza abaana mumasomero g’obusiramu agalimu eddiini okusobola okusomozebwa okuli munsi nokuberamu ensa.

Director wa Joweria Islamic Junior school and Quran memorization centre e Ndejje Kibutika Sheik Ali Abdul Noor Busuulwa agambye nti beteeseteese bulungi abayizi babwe era basuubira buwanguzi nga ebigezo bino bikomyewo nga bwebaze bakola buli mwaka.

Asibiridde abazadde entanda okukiririza mumasomero gyebasomeseza abaana babwe wamu nobutalekerera baana bano basigale nga babasabira ebbanga lyonna sibiseera byabigezo byokka wabula abaana betaaga edduwa z’abazadde ezabuli kiseera nabayizi nabo okwesabira.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *