Politics

Abayizi ba Lufuka Islamic P/S babasabidde,era nebolesa ebitone.

Abazadde basabiddwa okwekeneenya ennyo amasomero gebatwalamu abaana kubanga gakola kinene mukuzimba abaana oba okubattattana.

Omulanga guno gukubiddwa eyegwanyiza entebe ya Makindye Ssabagabo Hon. Akram Lutaya bwabadde omugenyi omukulu kusomero lya Lufuka Islamic Day and Boarding Primary School e Ndejje Lufuka mu Wakiso kumukolo gw’okusabira abayizi ab’ekibiina ekyomusanvu abanatera okutuula ebigezo byabwe eby’akamalirizo munnaku ntono ebya P.L.E nebya I.P.L.E.

Eduwa ekulembeddwamu omukulu w’ettwale lya Makindye Ssabagabo Sheik Ismail Kazibwe.Kumukolo gwegumu abayizi era boleseza ebitone omuli okusoma Quran,Hadith,ebitontome ebikwata kuddiini,e swalah,emizanyo ejiyigiriza abato,okwogera oluwalabu,okusoma amawulire nebilala.
Akram Lutaya agambye nti okusomesa abana ediini nga bakyali bato kikulu nnyo mubulamu bwabwe.

Ssentebe w’ekitongole ky’ebigezo by’eddini kumutendera gwa Primary ekya IPLE Board kukitebe ky’obusiramu ekya UMSC Sheik Amir Katudde asiimye omutindo amasomero ga Lufuka Islamic Schools gwegolesezza mubyensoma bya Uganda olw’ensonga nti kati abamu kubaana abasinga banaabwe mu Madinah lnternational University baayita mu Lufuka. Asabye bananyini masomero okwaniriza enkola ya E- Learning, nasaba namasomero amalala okukoppa enkola eno bajanirize nemunkola yeby’oluzungu.

Omukulu w’esomero lya Lufuka Islamic Day and Boarding Primary School Hajji Dimba Umar agambye nti abaana babwe ab’ekyomusanvu babateeseteese bulungi era nga bulijjo basuubira buwanguzi kubanga bamaze okubakwasa Allah.

Ono era agambye nti teli kyamugaso nga kusomesa baana bintu bibiri.Mungeri yemu annyonyodde nti ekimu kubintu ebyettunzi ennaku zino ze talanta ezenjawulo nga yensonga lwaki bateekateeka olunaku lwokwolesezaako ebitone bino buli mwaka okwongera okuzimba abaana bano.

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *