Politics

Abayizi balabuddwa obutakoppa bigezo.

Abayizi ba Mbogo College bakalatiddwa okwewala okukoppa mu bigezo.

Nga kulunaku olwa Mande abayizi ba S.4 batandika ebigezo byabwe eby’akamalirizo eby’omwaka 2023 basabiddwa okwewala ebikolwa by’okukoppa kubanga kijja kubavirako okusazaamu ebigezo byabwe ate nga N’obusiramu tebukiriza.

Sheikh Walakira Abdallah Ma’azi yasibiridde abayizi entanda eno nga asinzidde ku somero lya Mbogo College School e’Kawempe Mbogo eriri wansi w’amasomero ga Mbogo Schools kumukolo gwa Duwa ey’okusabira abayizi ba S.4 127 Ne S.6 101.

Sheik Walakira akalatidde abayizi okwesigamira Allah abajjukize byonna byebazze basoma okumala emyaka gyonna wamu n’okunyiikira okumusaba ennyo buli kiseera asobole okubagondeza buli kimu.

Omukulu wesomero lya Mbogo College School e’Kawempe munnabyanjigiriza Al-hajji Abdul Noor Sentamu agambye nti abayizi babwe babateeseteese bulungi nga bwebaze bakola nga basubira buwanguzi n’omwaka guno nga bwebaze bakola emyaka egiyise okuyisa obulungi abayizi. Asiimye abatandisi ba Mbogo Schools okuli Al-hajji Abdul Noor Ddamulira, Hajji Ma’azi Lulagala, Dr Ibrahim Matovu Ne Hajjat Zauja Ndifuna Matovu olwekyo kyebagasse kuby’enjigiriza by’eggwanga olw’okukwasizako gavumenti mukutumbula ebyenjigiriza.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *