Abayizi Ku Victoria University bagenze India kukuguka.
Abayizi abasoma obusawo okuva kutendekero lya Victoria University basitudde okwolekera eggwanga lya India okusobola okwongera okutendekebwa mubyebabadde basoma ng’abasawo ab’enkya.
Enteekateeka eno yakumala sabiiti bbiri nga batendekebwa mubintu ebitali bimu ng’era bakudda kuno nga 30 omwezi guno, abayizi bano basoma essomo lya “bacheror of pharmacy” nga bagenze okwongera okukuguka mu “practicals” kutendekero lya Ganpat University muggwanga lya India .
Bino bikakasidwa abakulira ettendekero lya Victoria University ngabayita kumukutu gwabwe ogwa X era nga kino kikoleddwa mukawefube owokusitula omutindo gw’ebisomesebwa kutendekero lino okutuuka kugwensi yonna .
Bya Bulyaba Hamidah