Abazadde muyigirize abaana okugaba- Hajjat Naluwembe.
Abazadde muyigririze abana obugabi. Iqra Islamic Primary School.
Nga abayizi abekibina eky’omusanvu betegekera okutuula ebigezo byabwe eby’akamalirizo ebya P. L. E eby’omwaka 2023, bakalatiddwa okubeera n’okukkiriza mubbo wamu n’okukwasa Allah ensonga zabwe zonna.
Buno bwebubadde obubaka bw’omukulu w’esomero lya Iqra Islamic Primary School E’Buddo Magwa mu Gombolola y’eNsangi Mu district ya Wakiso Hajjat Naluwembe Sophie Ddimba nga asinzidde kumukolo gw’okusabira abayizi ku somero lino ab’ekibiina eky’omusanvu abagenda okutuula ebigezo abawerera ddala 18 wamu nomusanvu aba IPLE.
Hajjat Sophie Agambye nti buli mwaka bakola omukolo guno og’wokusabira Abayizi babwe y’ensonga lwaki bazze bakola bulungi ebbanga lyonna. Abuuliridde abayizi obutetantala kukemebwa kukopa bigezo kubanga bijja kusazibwamu.Asiimye abazadde ababataddemu obwesige okubabangulira abaana nabasuubiza nti sibakuddirira.
Abayizi ba P7 bakutuula ebigezo byabwe ebya PLE nga 8 Ne 9 ogwekumi n’ogumu ate eby’ediini babikole nga 16 Ne 17 mu mwezi gwegumu.
Ye Director wessomero lya Iqra Islamic primary school Hajji Ddimba Umar asabye abazadde okubeera n’omutiima omugabi eri abato n’okubayigiriza okubera abagabi. Mungeri yemu asabye abazadde wamu n’abasomesa okwatagana okusobola okutumbula ebyenjigiriza.
Mubuufu bwebumu abayizi ba Iqra Islamic Primary School Buddo boleseza ebitone ebyenjawulo eri bazadde babwe omuli okusoma Quran, okutontooma, emizaanyo ejenjawulo ejogera kunkuza yabaana nebirala.
Bya Tenywa Ismail.