Abazadde muyambeko amasomero kubitone by’abaana – Sheik Kigozi.
District Kadhi wa Wakiso Muslim District Council Sheik Elias Kigozi asabye abazadde okukwasizaako amasomero mu kutumbula n’okuvumbula talanta z’abaana.

District okwogera bino asinzidde ku somero lya Buwambo Parents School ku mukolo abayizi kwebolesereza ebitone ebyenjawulo mu mizannyo omuli mukyaka-mukyaka, okubaka,omupiira,okukumba nebirala.

District kadhi ayaniriziddwa omukulu w’ettwale lya kasangati Sheik Ismail Ggoloba agambye nti omulimu guno ogwokutumbula talanta z’abayizi abazadde abasinga bagulekedde masomero ate nga nabo mpagi nene mukukwasizako amasomero gano.

Sheik Kigozi takomye okwo annyonyodde nti kati talanta zafuuka kyabugagga ddala nga abantu bangi abagagawadde nga bayita mubitone nga eby’emizanyo nasaba abantu obutakibuusa maso.


Asibiridde abazadde entanda ey’okukuriza abaana mudiini kubanga ky’ekisumuluzo ky’obuwanguzi munsi n’okulongooka kw’ensi.

Agambye ebimu kubyeyeyama nga ayingira mu office kwekukutumbula eby’emizannyo mubamusaayi muto era nasiima abessomero lya Buwambo Parents olw’omusingi gweboleseza neyeyama okutambulira awamu nabo abazimba talanta zabaana.
Bya Ismail Tenywa