ABOLUDDA OLUVUGANYA BAGENDA KUFULUMYA AKATAMBI AKALIMU EKIWAMBA BANTU
Nga ab’oludda oluvuganya gavumenti bakyagaanye okudda mu palamenti okutuusa nga gavumenti evuddeyo ne alipoota ekwata ku kiwamba bantu nokutyoboola eddembe lyabantu, bagamba bagenda kuta akatambi akalimu obujulizi bwebakungaanyizza kubantu 18 ababuzibwaawo era bagamba newankubadde sipikiika abasisinkanye enfunda eziwera kukyokudda mu palamenti naye tebannatuuka kukukkaanya.
Kulwa akulira oludda oluvuaganya gavumenti, nampala w’oludda oluvuganya John Baptist Nambeshe agamba newankubadde sipiika abasisnkanye enfunda eziwera kukyokudda mu palamenti naye tebannaba kukkirziganya kubukwakkulizo bwebateekawo
Nambeshe awakanyizza ebibadde bubungesebwa nti waliwo abamu ku babaka bannaabwe abaagala okudda mu palamneti nga agamba olw’omulamwa gwebaliko waliwo nabaabaka ba NRM abaagala okubeegattako
Bano era bagenda kuta akatambi kebaludde nga bakolako akalimu obujulizi bonna kubantu abawambibwa nga batottola engeri abantu baabwe gyebakwatibwaamu.
Bagamba bbo nga ababaka bayita mukusomoozebwa okutagambika mukulabilira amaka gabantu abaawambibwa omuli okubaliisa, okubaweerera n’okubajanjaba era bagala gavumenti esitukiremu eve mukwekangabiriza
Kati zikunukkiriza okuwera entuula za palamenti 10 nomusobyo bukya ababaka abali kuludda oluvuganya beekandagga nebafuluma kko nokwebalama entuula zino okutuusa nga gavumenti evuddeyo nookumyonyola ku bantu abali eyo mu 18 abawambibwa, okutyoboola eddembe ly’obuntu kko nokuyingiriranga enteekateeka zebibiina ebiri kuludda oluwabula gavumenti newankubadde gavumenti yategeeza nga yyo bwetalina kipya kyegenda kubanyonnyola kunsonga naddala ezekiwamba bantu.
Bya Namagembe Joweria