Ab’oludda oluvuganya begasse wamu kunsonga za Dr. Besigye.
Ebibiina byobufuzi kuludda oluwabula gavumenti bassizza kimu nga nkuyege nebalagira kooti yamagye okujja emisango ku Col. RTD Dr. Kiiza Besigye ne munne Hajji Obedi Kamulegeya ejibavunanibwa, oba baletebwe mu kooti y’abantu babulijjo kubanga abavunaanwa sibannamagye nti balina kuvunaanwa mu kooti yabulijjo.
Abakulembezze b’ebibiina bano nga bakulembeddwamu akulira ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu mulukugaana lwa bannamawulire lwebatuuziza ku palamenti, Kyagulanyi avumiridde ekikolwa gavumenti kyeyakola ekyokuwamba Dr. Besigye ne Hajji Obedi nebatwala mungeri emenya amateeka gawano ne bweru w’eggwanga ,nakkatiriza nga bwebatagenda kusirika okutuusa nga gavumenti ya wano efunye ensonyi neeta abasibe bona b’ekuumidde mu kooti yamagye nga ate sibanamagye.
Yye munnakibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) Gen. Mugisha Muntu agamba nti singa gavumenti yali eyagala kukwata Dr. Besigye ne Hajji Obedi yandibalinze nebadda kuno olwo netuukiriza ebigendererwa byayo okusinga okubaswaza ebweru w’eggwanga.
Lord Mayor Ssalongo Erias Lukwago nga yakiikiridde ekisinde kya PFF ategezeza nti singa bakwatagana nga webali kati nebwogeza eddoboozi limu bajja kubaako kyebatuukako naddala munsonga ezimenya amateeka ezikolebwa mu kooti yamagye.
Winnie Kiiza ng’ono yaliko omubaka omukyala owa Kasese era nga kati ali mu kibiina kya Alliance for National Transformation ( ANT) agambye nti amateeka gavumenti geyasaawo okuluma basaalumanya ne banaalumanya tebewuunya nga gabadidde nga bwanyonyodde.
John Kenny Lukyamuzi owa Conservative Party (CP) asiimye ekibiina kya NUP okubakunganya nga kiyita mu mukulembezze wakyo era nasaba obumu bwongere okubaawo bwebaba nga baagala okukyuusa obukulembeze .
yye munnakibiina kya PPP Sadam Gayira akowoode abakulembeze ku mitendera ejenjawulo okuvaayo okugatta eddoboozi lyabwe kunsonga eziruma eggwanga nabasaba okwewala ensonga nga zino okuzirekera bannabyafuzi bokka.
olukugaana luno lwetabiddwamu abakulembeze b’ebibiina ebyenjawulo kuludda oluwabula gavumenti abawerera dala 11 nekigendererwa okyokugatta eddoboozi eryawamu okulaba nga balwanirira eddembe erya col Dr. Kiiza Besigye ne Hajji Obedi Kamulegeya nabalala abawozesebwa mu kooti yamagye .
Abakulembeze bano kubaddeko akulira ekibiina Kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, Mugisha Muntu (ANT),Lord Mayor Ssalongo Erias Lukwago PFF (FDC Katonga), Winnie Kiiza owa ANT, Wafula Oguttu FDC, Sadam Gayira PPP,John Kenny Lukyamuzi owa CP, Doreen Nyanjula amyuka Lord Mayor, Joel Ssenyonyi,David Louis Lubongoya nabalala nga bano balina nekiwandiiko kyebasizaako emikono okulaga obumu munsonga eno.
Bya Namagembe Joweria