Tetugenda kuddamu kutuula mu Palamenti erimu bambadde bukookolo-Ababaka baweze.
Akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba akubidde amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa enduulu ku bantu abatategerekeka abambadde obukookolo abaali mu kisenge ekitesezebwamu ne bweru wa palamenti kyagambye nti ababaka bbe bwebatali bakakkamu nga bali mu ntuula zino , olw’ensonga nti palamenti yonna yetoloddwa abamajje n’emotoka zabakuuma ddembe ekitiisa ababaka okwanja ensonga zabwe nga bwebagala.
Mpuuga asabye wabeewo okukaanya eri enjuyi zombi ku bababaka 5 abawummuziddwa mu ntuula za palamenti 3 olwokusiiwuka empisa mu palamenti, nga agamba nti ensonga eno yetaaga okugonjoolwa kwossa nebibuuzo ebyebuzibwa biddibweemu okuva mu njuyi ezenjawulo .
Ono era yemulugunyizza ne ku engeri ababaka jebatuulamu mu palamenti eddemu etunulirwe kubanga yye alaba abantu batamanyi kuludda ababaka be jebalina okutuula era ngono agambye tajja kusobola kwogerera bantu batamugobelera ate nga bbo bawunyiriza mangu embeera etali nungamu kuludda lwe.
Wabula mukwanukula amyuka sipiika Thomas Tayebwa ategeezezza nga bw’afunye obubaka okuva wa “surgent at arms” mbu amajje agetolodde palamenti gatereddwawo oluvanyuma lwokuwulira nti waliwo abantu abagala okwekalakaasa.
Oluvanyuma lw’aboludda oluvuganya gavumenti okwekandagga nebafuluma olutuula lwaleero, bogeddeko n’abamawulire nebategeza nga bwebabadde batayinza kutuula okutuusa nga amyuka sipiika Tayebwa atandikidde ku nsonga zebakomyeeko olunaku olweggulo okulaga eggwanga akatambi ak’abakumaddembe nga bawutula abawagizi ba NUP ne nebannayuganda okulwaliza awamu n’ensonga endala nyinji era nebawaga obutadda mu palamenti okutuusa nga amyuka sipiika akiriza okulaga akatambi ako.
Bya Namagembe Joweria