Aboludda oluwabula gavumenti bandizira okwenyigira mu kalulu ka palamenti yamawanga ga East Africa
Aboludda oluwabula gavumenti mu palalmenti bandizira okwenyigira mu kalulu ka palamenti yamawanga amagatte EALA oluvanyuma lwokukizuula nti waliwo ebitatambula bulungi.
Bino byogeddwa akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga munsisikano gyabademu nababaka abali kuludda oluwabula gavumenti ng’era eno tewakiriziddwayo bannamawurire.
Oluvanyuma lwensisinkano eno kumakya g’aleero mpuuga ategeezezza bannamawurire nti balemereddwa okutuuka kunzikiriziganya olwensonga ezenjawulo ng’era ekyenkomeredde bakukyanja kulwokubiri lwa sabbiti ejja.
Bano ebimu kubibabobbya omutwe kwekuli ebifo 6 NRM byelina mu Palamenti eno kyebagamba nti sikyabwenkanya.
Yye omubaka wa Baale constituency Charles Tebandeke ategeezezza nti bwekiba ngekibiina Kya NUP ekisinga okuba nomuwendo gwababaka abangi baava mukalulu kano,ayagala nabarala baveemu kileme kuletawo njawukana mubigendererwa byabwe.
Okulonda kwababka ba EALA kwakuberawo nga enaku zomwezi 29 Omwezi guno nga Uganda mu palamenti ya EALA elinayo ebifo 9 byoka nga abegwaniza ebifo bino bamazzedda okusunsulwa era ng’anolunaku olwaleero Palamenti eyawamu yakwogera kunsonga eno mulutuula olwawamu.
By Namagembe Joeria