Amakomera mu Uganda gajudde.
Omukubiriza w’olukiiko lweggwanga olukulu Rt. Hon. Anita Annet Among ategezezza nga palamenti bwe balina okuloowoza ku kyokugaziya amakomera gonna agali mu ggwanga nga bayita mukwongera ekitongole kino ensimbi mu mwaka gweby’ensimbi ogujja.
Bweyabadde aggulawo olutuula lwa palamenti akawungeezi eggulo, Among yagambye nti akulira ebyamakomera mu ggwanga yamutegeezezza nga bwebatakyalina bifo wakussa basibe kubanga amakomera gonna gajjula ddaaa.
Omubaka wa Otuke East Hon Acon Julius Bua ategezeza palamenti nga bwebandiyambyeko okufunira abalamuzi abantu ababeera bazizza emisango emitono kubanga mu makomera gano abantu babakuba, bakola emirimu ejenkana nejabo abazza ejanaggomola.
Acon agambye nti okumenya amateeka tekyewalika wabula balina okunoonya engeri eyokuyamba abantu ababeera bazizza obusango obutono ekintu sipiika kyagambye nti ssi mulimu gwabwe okuyamba abasibe okuteebwa wabula bbo balina kukakasa nti bano bali mu mbeera nungi.
Wabula Nampala wa gavumenti Hon. Hamson Denis Obua agambye nti tewali muntu yenna alina lukusa lukuba musibe era nga bwekiri nemumawanga amalala amakomera bye bifo abazzi b’emisango jebalina okwenenyeza ebisobyo byabwe kale nga ekyokulima takilabamu buzibu.
Bya Namagembe Joweria