Politics

Ambasada wa Lybia atenderezza gavumenti ya Uganda olw’okutumbula ebyenjigiriza.

Ambasada wa Lybia mu Uganda His Exellence Ibrahim Ahmada Sultan atendereza govumenti ya Uganda ekulemberwa Gen Yoweri kaguta Museveni olwomulimu gwekoze okuyitimula ebyenjigiriza mu uganda.

Ambasador okwogera bino asinzidde kusomero lya Ndejje Quality Sch ku Campus yabwe enkulu eye Kitiko Mutungo Ndejje Division kumukolo gw’okusabira abayiizi abawerera ddala 53 okuva kusomero lino abagenda okutuula ebigeezo byabwe ebya P.7 okutandiika sabiti eno etandika olwaleero kubaalaza. E Duwa eno ekulembeddwamu Sheik Hassan Twahir Kasadha akulira Haramaini Foundataion. Ambasador wa Lybia mu uganda bwatyo ayagaliza abayizi ba uganda bonna okuyita ebigezo obulungi nasaba Uganda okusabira eggwanga lyabwe elya Lybia okubukalamu emirembe.

Sheik Hassan Twahir Kasadha abuliridde abayiiiz bano okulembeza Allah mubuli kimu basobole okufuna okwesiima.

Abayiiizi ba p.7 bonna bakutandiika ebigeezo byabwe ebyakamalirizo k olwaleero nga bakutandika n’essomo ly’okubuulirwa, kulwokubiri batandiike okuwandiika nessomo ly’okubala kumakya,olwegulo bakole essomo lya S.S.T ate kulwokusatu bamaliriize N’essomo lya Science akawungeezi basembyeyo essomo ly’olungereza.

Omutandiisi wamasomero ga Ndejje Quality Schools e Ndejje ne Kitiiko Mutungo sheik Sulaiman Ahmada Nuwagaba Rwomushana agamba nti abayiiizi babwe babategese bulungi ng’era bulijjo babasuubira okuyita obulungi. Asabaye abazadde okukuma abaana obutiribiri olw’ensonga nti obulwadde bwa ebola webuli era Butta nokubewaza ebikolwa ebikyaamu.

.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *