Politics

Ba ddereva mwawukane kubakyala kimpadde- Hajj Njuki.

Omumyuka w’omukulebeze w’eggwanga mu Division ya Kawempe Al Hajj. Njukki Mbabali, akuutidde abagoba b’ebidduka bona okwambala amataawo mukiseera kino nga tukomekereza omwaka olw’abakyala kimpadde aberimbika mu mulimo guno nebanyagulula ebintu by’abasabaze.

Ono okwogera bino asinzidde mu Division ya Kawempe mu Nabukalu Zone bwabadde aggulawo yafeesi yabagoba b’emotoka abakolera mu Division eno, n’akalatira abavuga emotoka ezisaabaza abantu okubeera bakalabaalaba eri abamenyi b’amateeka mukiseera kino okulaba ng’obumenyi bwamateeka obweyolekera mu mulimo guno bukomezebwa okusobola okutereza erinnya lyabwe.

Mugeri y’emu asinzidde wano n’ategeeza nga yafeesi egguddwawo bw’egenda okubayambako mumbeera y’okumalawo obumenyi bw’amateeka nga beyambisa abakulembeze era n’abasaba okwettanira ennyo okuwandiika enamba z’emotoka mumbiriizi okuyambako okulodoola obulungi.

Yye akulira eby’empisa mukitongole ekitaba abagoba b’ ebidduka ebisaabaza abantu ekya UTOF Ssendagire Sowedi, ansizidde wano n’ategeeza nga yafeesi eno bwegguddwawo okukoleramu emirimo gya Taxi era n’abasaba okutambulira mubulabulukufu ky’agambye nti singa banalemererwa bakuggalwawo.

Mubuufu bwebumu ssentebe wabagoba ba Taxi mu Division ya Kawempe Ssemwanje Sadat, asabye abagoba b’ebidduka bonna okuvuga n’obwegendereza ennyo mukiseera kino okusobola okutangira obubenje obutera okweyoleka ennyo munnaku zino.

Ono mugeri y’emu asabye abasaabaze bonna okubeera abakkakamu eri abagoba b’ebidduka bino okulaba nga tebajibwa kumulamwa okusobola okuvuga obulungi.

Bya Kasekende Francis

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *