Ba Sheik neba Hafiz Quran abasoba mu 50 batikiddwa ku Ubbayi Islamic Schools e Bombo
Libadde Sanyu lyokka kusomero lya Ubbayi Bun Ka’ab Islamic Schools and Quran Memorisation Center ettabi elye’Bombo Nyimbwa mu Luwero District bwebabadde batikkira abayizi 53 abawala n’abalenzi abamazeeko ekitabo kya Quran wamu n’abo abamazeeko obwa Sheik kumutendera gwa Thanawi.
Amatikkira gano (Hafla) gabadde gamulundi gwa 21 bukyanga somero lino litandika okutikkira.
Omugenyi omukulu abadde omusomesa wediini omwatikirivu nga awangaalira mu ggwanga lya Malaysia era akulira Peace Tv Dr. Zarik Naik.
Mububakabwe akalatidde banna Uganda okumanya enkozesa yebiseera kubanga kati ensi etambulira kubudde. Agambye nti abantu abasigalidde ennyo emabega bebo abatawa biseera kitiibwa.
Dr. Zakir Naik abasabye okkola ebyo ebyongera kukumanya oba enkulakulana yomuntu okusinga okumala obudde mubitabayamba. Omukolo gwokuttikira gukoleddwa Dr. Zarik Naik.
Mukwogera kwe amyuka Mufuti wa Uganda owokubiri His Eminence Dr. Hafiz Muhammad Haruna Bukenya yebazizza Allah olw’ebyengera byatuusizza ku Ubbayi.
Hafiz Bukenya akalatidde abatikiddwa okwewala amalala mukusomesa eddiini, wamu nokubeera abakakkamu era abomugaso eri abantu bonna.
Abasibiridde entanda eyokusigala nga beyongerayo nemisomo emilala kubanga omuntu asomye ebintu byonna abeera wankizo era obulamu bwensi bumwanguyira.
Omukolo guno gwetabiddwako ne ssabawandiisi wa Muslim world League
Dr Abdul Rahman Zaid, district kadhi wa Wakiso Sheik Ramadhan Mulindwa, Chairman wa IPLE Board mu Uganda ku UMSC Sheik Amir Katudde, Sheik Umar Gugumiza okuva mukitongole kya Idaadi and Thanawi Examinations Board,Dr Sheik Muhamad Afan okuva mu Busoga,Munawulire wa BBC Sheik Kasim Kayira, abaasomerako kumasomero ga Ubbayi Islamic schools nabakungu abalala.
Bya Tenywa Ismail Idirisa