Bannanyini TV ne Radio bagala gavumenti ebakendeereze Ku misolo
Ekitongole ekigatta abakulira emikutu egy’ebyempuliziganya ekya ‘National Association of Broadcasters’ kiwanjagide Gavumenti okukendeeza ku ssente ezibagyibwako okufuna ‘license’.
Bino bituukidwako mu tabamiruka w’ekibiina ekya NAB nga ono ayindidde Ku Protea Hotel mu Kampala.
Okusinziira ku Ssentebe owolukiiko olwa’bayima b’ekitongole kino Kin Kalisa agamba nti ssente ebitundu 2% ezibagyibwako nyingi nnyo ekireseewo obuzibu kungeri gyebakolamu emirimu gyabwe.
Kalisa mungeri yemu asabye ekitongole ekya UCC wamu ne minisitule eyebyamawulire okukola enongosereza mu mateeka agalungamya ebyempuliziganya okutondawo akakiiko akagonjoola obutakkanya obubalukawo wakati wabannanyini mikutu wamu nabemulugunya.
Yye omugenyi omukulu era ngayakikiride ssenkulu wa UCC Fred Otunnu asuubizza okukola kunsonga ya mateeka aganyigiriza banabyampuliziganya wamu nokukola Ku bizibu byabwe.
Omukolo guno gwetabidwako abakulira emikutu gy’ebyempuliziganya okuli TV, Radio nabalala.
Bya Mukasa Fred Kiwala Kiku