Politics

Bavumiridde omusolo ogwayisiddwa palamenti ku pampa z’abakulu n’abaana abato.

10/05/2023

Ababaka abakyala okuva ku ludda oluwabula gavumenti bavumiridde omusolo ogwayisiddwa palalmenti ku pampa z’abakulu n’abaana abato.

Ababaka bano nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa district ey’emityana Joyce Bagala okubadde omubaka omukyala owa Kiboga nga ye minisita ow’obutonde bw’ensi mu gavumenti empabuzi,n’omubaka omubaka omukyala ow’eluweero Brendah Nabukenya basinzidde mu nsisinkano ne bannamawulire ku palalmenti ne bategeeza nga omusolo guno ku Pampa bwegugendereddwamu okwongera okufeebya abakyala abagenda okukaluubiririrwa embeera y’okukozesa nnappi nga neggwanga engeri gyerizze likula omulembe gwa nnappi tegwetaaga kuzza balina kusigala ku pampa nga omubaka Joyce Bagala bwannyonnyodde

Omusolo guno gwagendererwamu okukendeeza okukozesebwa kwa pampa olw’obulabe bwezirina eri obutonde bwensi wabula nga minisita w’obutonde bwensi mu gavumenti empabuzi Christine Nakimwero asinzidde mu nsisinkano eno nagamba nti gavumenti esaana kussaawo enteekateeka yakusanyaawo pampa zino okwewala okwonoona obutonde bwensi mu kifo kyokuziggyawo kubanga ensi ekula egenda mu maaso, wasabidde gavumenti okussa sente mu nsawo y’obutonde bwensi kiyambeko ku mbeera eno.

Enteekateeka eno gavumenti mweyagalira okukungaanyiza omusolo oguwera obuwumbi bubiri n’obukadde lukaaga (2.6bn) ababaka bano bagikubyemu ebituli nga bagamba nti emisolo mingi gizze gisoloozebwa naye nga tegikola mulimu gwezirina kukola nga omubaka omukyala owa district ye luweero Brenda Nabukenya bwanyonyodde.

Palamenti sabbiiti ewedde yayisa ebbago ku misolo eryatuumibwa value added tax amendment bill 2023 omwassibwa omusolo ku bintu omuli ne pampa gwa bitundu 10 ku buli kikumi (10%).

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *