Politics

Birr Al Waledain bazimbidde abe’Buddo omuzikiti ku Iqra Islamic.

Omukulu w’ettwale lya Makindye Ssabagabo Sheik Ismail Kazibwe agguddewo omuzikiti maso galikwoleka kussomero lya Iqra Islamic primary school Buddo Maggwa mu disitulikiti ya Wakiso. Omuzikiti guno guzimbiddwa ekitongole kya Birr Al Waledain okuva mubwakabaka bwa Jordan.

Mububaka bwe ng’agulawo omuzikiti guno Sheik Kazibwe akuutide abayizi wamu n’abasiramu be maggwa okukozesa obulungi omuzikiti ogubawereddwa nga bakoleramu ebyo byokka ebigwanidde omuli okusaaliramu,okusomeramu Quran, okusomesezamu ediini okutendererezamu Allah wamu n’okugattiramu abasiramu.

Sheik Kazibwe agambye nti emizikiti bifo byankizo nnyo nga nabwekityo bilina kolerwamu mirimu mirungi gyokka ejigasa eddini.

Omuzikiti guno gutuuza abantu abasoba mu 500 era nga ekifo weguzimbiddwa kiweereddwayo Director w’essomero lino erya Iqra Islamic primary school Hajji Dimba Umar.

Akulira essomero lino hajjat Naluwembe Sophie Dimba asiimye ekitongole ekibazimbidde omuzikiti guno wamu nebibiina by’essomero bibiri wamu nekabuyonjo eyomulembe,nabasuubiza nti bakufuba okulaba nga basomesezamu obusiramu nabayizi babwe basobole okugasa eggwanga mubiseera ebigya. Kulunaku lwelumu wabaddewo n’okwolesa enyambala ennungi ey’obusiramu, Nga omukulu Wessomero agambye nti bakikoze okulaga nokwagazisa abayizi enyambala yabwe eyobusiramu.

Akiikiridde ekitongole kya Birr Al Waledain nga yomu kuba engineer bakyo mu Uganda Sheik Mulondo Ausi agambye nti ekilubirirwa kyabwe kyakulaba nga obusiramu busomesebwa bulungi nasaba abawereddwa omuzikiti guno bagukuume bulungi wamu nokugulabirira nokusaasanyizamu dawa.

By Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *