Politics

Ebitongole bya gavumenti ebikola emirimu egifanagana byakugattibwa.

Ababaka ba palamenti abava mu kabondo kekibiina ekya NRM kyaddaaki basazeewo enkyenkomeredde bwebakkiriziganyizza okuyisa amabago gonna agakyali mu Palamenti agagendereddwamu okugatta ebitongole bya gavumenti ebikola emirimu egifanagana okujjako ebitongole bibiri okuli ekivunanyizibwa ku mwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) ne kya NITA -U olwensonga nti bino ebibiri biriko endagaano ezibiriko ezitannamalilizibwa.

Bino bituukiddwako mu nsisinkano ya kabondo k’ababaka ab’ekibiina ekya NRM gyebbabaddemu n’omukulembezze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwaleero ebadde egendereddwamu okusala eggoye ku Tsonga eno oluvannyuma lwa prezident okusisinkana obukiiko bwa Palamenti obukwatibwako ku ntandikwa ya sabiiti eno.

Mu lukungana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku Palamenti oluvannyuma lwe nsisinkano eno,omwogezi wa kabondo ka babaka mu NRM Alex kintu Brandon mwasinzidde nategeeza nti bakkirizigannyizza nga ekibiina okuwagira ekyokugatta ebitongole omuli ekya mata , UNRA,NAADS,ekya pamba ne birala wabula ekitongole kye mwanyi ki UCDA kko nekya NITA-U basazeewo okubiwa ebbanga lya myaka esatu nga endagaano ezesigamye ku bitongole bino bwezigwako.

Nampala wa gavumenti Hamson Denis Obua anyonnyodde ku nsisinkano ze bazze beetabamu n’omukulembezze we ggwanga mwategerezza ngensisinkano zino bwezibadde ezenkizo engeri gyekiri nti NRM yesinga ababaka abangi mu Palamenti.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *