Politics

Eddagala ery’akawuka ka mukenenya terikosa walubuto.

Abakyala abali embutto nga balina akawuka ka mukenenya, bakubiriziddwa okwettanira okunywa eddagala eriweebwa abantu abalina akawuka kamukenenya oluvanyuma lw’abakugu mukujjanjaba abalina akawuka kamukunenya okwekeneenya n’okukola okunoonyereza kw’abo abalikozesezako nga bazito.

okusinzira ku Dr. Kabugo okuva mu Makerere University ne Johns Hopkins University ayanjjude ebyava mukunoonyereza okwakolebwa ku daggala eriweebwa abakyala abalina embuto ngabalina n’akawuka kamukenenya erya Dutegravir (Dtg) ne Raltegravir (ral).

okunoonyereza kuno kwakolebwa wakati w’omwaka gwa 2018 ne 2019 mubitundu bya sub saharah Africa ne Brazil ,abakyala 643 abalina akawuka akaleeta mukenenya nga bali mbuto abasobola okukozesa eddagala lino ebitundu 98% tebafuna kukosebwa kwona .

Ate bo Abaana abawerera ddala 650 be bakagannyulwa munteekateeka y’okuyonka amabeere agatali ga ba maama babwe okuva mubigero bya liita 800.

Bino byasanguziddwa abakugu mukuyonsa abaana bebatazaala okuva mukibiina kya Atta Breast Milk nga kino kibiina kyabwanakyewa ekyagujibwawo n’ekigendererwa ekyokuyambako ba maama abatawanyizibwa mukoyonsa abaana babwe olw’esonga ezitali zimu.

Okusinzira ku Racheal Akunguzibwe okuva mu Atta Breast Milk, bwabadde ayogerako eri bannamawulire abasaka amawulire ng’eby’obulamu mukibiina ekibagatta ekya HEJNE wano ku yafeesi zabwe ezisangibwa ekamwokya, asabye ba maama okwettanira ennyo okuyonsa abaana babwe kubanga gyebakoma okuyonsa nabo kibayamba ngabanakyewa okufuna amatta gebawa abo abatasobola kuyonsa .

Racheal agenze mu maaso nasaba ba maama obutafuna nkenyera mu mata gano gebawa abaana babwe gagabye nti tegalina buzibu olw’okwekebejja okugakolebwako okulaba nga gatukagana bulungi n’omutindo era nawa eky’okulabirako kya ba maama abawa abaana babwe amata agava munsolo kyoka nebatabako kyebaba.

Mungeri yemu ye Doreen Mazakpwe ng’ono mukugu mukusomesa ba maama okuyiga okuyonsa, agambye nti ba maama bangi balina obuzibu bungi mukuyonsa abaana era nasaba abasaawo okwongera okusomesa ba maama okuyiga okuyonsa olw’esonga y’omuwendo gwa ba maama abatamanyi kuyonsa ekweyogera ennyo nga kino kyekiviriddeko abaana abangi obutabayonsa.

ono agambye nti abazadde babadde bagezezaako okuyonsa abaana babwe wamu n’okuwa abaana babwe eby’okulya ebibakuuza obulungi.

Doreen agaba nti, okusinziira ku kunoonyereza okwakasembayo okwakolebwa mumwaka gwa 2022 kulaga nti, abazadde abayonsa abaana babwe ngatebabawadde kintu kirala okujjako amabeere goka okutuuka ku myezi mukaaga nga bakola ebitundu 87% ngakino kiraga nti ba maama babadde bagezezako okuyonsa abaana babwe.

Bya Bulyaba Hamidah

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *