Emotoka eyamasannyalaze eyokusatu egabiddwa aba Mandela.
Kyeyune Godfrey olwaleero akwasiddwa emotoka eyamasannyalaze gyeyawangula kulunaku olwokuna mukalulu wiki eno , nga president wa Linglong Tire company Mr. Wang Feng yennyini yamukwasizza ekisumuluzo kumukolo ogubadde Ku City oil ettabi eriri Ku Kira Road Kamwokya.
Okubeera mu kalulu kano ogula emipiira egya Linglong ku City tyres oba City oil wona nojjuza akakonge olwo nebukunganyizibwa nemulondebwamu namukisa omu awangula emotoka, saako nabalala abaawangula amafuta, okkebera n’okukanika emotoka zabwe, ate n’obuwunga saako engano.
Eno emotoka yakusatu nga egabwa aba Linglong ne Mandela Group , omwaka oguwedde emotoka bbiri zezawangulwa mukazannyo kano.
Omukolo guno gwetabiddwako n’akulira Kampuni eya Mandela Group Hajj Omar Mandela.
Bya Ssali Nasif