ENTEEKATEEKA Z’AMASAZA GA BUGANDA KU MUTENDERA OGUDDIRIRA OGWAKAMALIRIZO.(SEMI-FINALS)
Empaka ez’amasaza ga Buganda 2023 zituuse kumutendera oguddirira ogwakamalirizo (semi-finals) nga amasaza ana (4) gagenda kuttunka. Gomba bagenda kukyaaza Buddu ku kisaawe e’Kabulasoke ate Mawokota bagenda kukyaaza Bulemeezi ku kisaawe e’Buwama mu mipiira egy’oluzanya olusooka.
Emipiira gyombi gyakutandika ku saawa ye’emu (9) kulunaku olwasande. (01/09/2023)
Gomba nga bano batendekebwa Felix Ssekabuza era nga bakawangula ekikopo kino emirundi egisinga obungi etaano (5) okutuuka wano bagyeemu Ssingo kumugatte gwa goolo 4-1. Gomba era yakuba Buddu mu 2020 okwettika ekikopo ky’amasaza.
Gomba etunuulidde bamusaayi muto era nga ba muyizzi tasubwa Kenneth Kimera kati azannyira mu Wakiso Giants eya Startimes Premier League ne Allan Oyirwoth okubayambako okutuukiriza ekirooto kyabwe okusitukira mu kikopo eky’omwaka guno.
Buddu nga bakawangula ekikopo kino emirindi ebiri gyoka wabula nga batuuse ku mutendera ogwakamalirizo emirundi egiwerako nga n’emyaka esatu egisembyeeyo babadde bazanya fayinolo, banoonya okutuuka ku fayinolo ey’okuna ey’omuddiringanwa bagyeemu essaza lya Kyadondo mukusika omuguwa okwamaanyi okwaleetedde ne Kyadondo obutagenda mu maka ga Buddu okuzanya omupiira ogw’okuddingana, oluvannyuma lw’okwemulugunya nti Buddu yali ebasaze ensawo nga batta goolo zabwe bweyabawangula goolo 2-1 mu maka gaabwe mwennyini ku Homiesdallen, nga okulwanagana ne tiyagaasi byebyeyolekera mu nsisinkano eno.
Bano nga batendekebwa Simon Peter Mugerwa nga ono n’omutendesi wa Gomba Ssekabuza baali babiri nga bayambako Busiro okuwangula ekikopo ky’amasaza omwaka oguwedde, batunuulidde abavubuka babwe Pius Ssebulime ne Meddie Kasule okubayambako okuyita kuluzanya luno. Buddu sizoni ewedde kumutendera guno bajjako essaza lya Bulemeezi wabula nga negyebuli eno abalyannaka tebaamatira nangeri gyebagyibwamu era Buddu bagyiwanda lulusu.
Ku ludda olulala essaza lya Mawokota bamaze emyaka egiwera kkumi nga tebatwala ku kikopo kino nga basemba okuwangula amasaza mu 2013, nabo batunuulidde wakiri okuyitawo balwane okulaba nga bongera kubikopo ebisatu byebalina (2013, 2007,2004).
Tiimu eno etendekebwa Richard Malinga nga ono ayaayana nga omutendesi wakiri okutuukako ku mutendera gwakamalirizo omulundi ogusooka nga sizoni ewedde yakoma kumutendera guno gwennyini nga Buwekula emugyako.
Bano bakyaazizza Bulemeezi abalayannaka abakoma kumutedera guno webali, nga mukiseera kino batendekebwa Ibrahim Kirya eyali ku ssaza lya Busiro kuntandikwa.
Bulemeezi bagyeemu Buwekula ku mutendera ogwa tiimu omunaana era buwekula nebavaayo nga bagamba nti Bulemeezi bakazesezza eddogo mumupiira.
EDDOGO
Tulabyeeko ebiseera bingi nga abantu bekwasa amasaza agenjawulo mbu bakozesa eddogo okuwangula emipiira egyenjawulo nekumulundi guno byeyolese.
Mu ssaza erya Buddu eyabadde amyuuka omutendesi wa Buddu Sulaiman Mike Mutyaba yasuulawo tawulo nagamba nti ebikolwa ebyakalogo kalenzi bisusse okukozesebwa mu nkambi ate nga yye tabikiririzaamu nga omusajja omusiraamu.
Mungeri endala Buwekula bavuddeyo nga bemulugunya nga Bulemeezi bweyakozesezza eddogo okubawangula okuyitawo okutuuka kumutendera guno.
Wabula ebyo sibyebyokka ebibaddewo naye byesinze okwogerwako sizoni eno.
MINISITA ALABUDDE.
Ow’ekitiibwa Robert Sserwanga yavuddeyo nalabula amasaza kuneyisa yaago kubisaawe, abakungu saako abawagizi.
Ono yagenze maaso nalabula amatiimu obutetantala kugaana kugenda kuzannya mipiira gibeera girambikiddwa nga Kyadondo kyeyakoze obutagenda Buddu. Era nayogera kukyokutunda oba okulya enguzi mu mupiira nga bweguli ogwannagomola eri oyo yenna anasangibwa munteekateeka bweti oba eyefananyirizza.
. Bya Ssali Nasif