Politics

Esomero lya Al-Haqqu Junior School-Busabala Ligguddwawo mubutongole.

District Kadhi wa Entebe Muslim District Council Sheik Sulaiman Faruk Sendijja akalaatidde abasiramu okwongera okusoma nokusomesa abaana okwongera okugyirawo ddala ekifananyi ekyaali mubantu nti abasiramu tebasoma.

Sheikh Sendijja okwogera bino asinzidde kusomero lya Al-Haqqu Junior School e Busabala mu district ya Wakiso nga yabadde omugenyi omukulu mukuggulawo esomero lino era mungeri yemu abayizi boleseza ebitoone ebyenjawulo byebasomye mumwaka omulamba.

Sheik Sendijja ono asabye abazadde okukuuma abaana obutiribiri mubiseera bino eby’oluwummula baleme kuyigiramu mize olwensonga nti obusiwuufu bwempisa buyiritiridde mubantu.

Ebimu kubitone ebyoleseddwa mulimu okusoma Quran,Hadith,okuzannya emizannyo ejiyigiriza abato,okusoma amawulire, okwogera olulimi oluwalabu,okutontoma,nebirala.

Abayizi ba Top nabo batikkiddwa mubutongole okugenda mukibiina ekisoka.

Director wa Al-Haqqu Junior School – Busabala Sheik Busulwa Ali asiimye abazadde ababataddemu obwesige nebabawa abaana, era agambye nti olunaku luno olwa Islamic Cultural Day balukola buli mwaka okwongera okuzuula talanta z’abaana zebalina nga ojeeko ebibasomesebwa mubibiina. Agambye nti kisaanidde abasomesa okukola ekisoboka okuzimba omwana nebinamugasa mumaaso.

Ekitongole ekya Classic African Community Empowerment Organization ekikyikiriddwa Regional Coordinator wakyo mu Uganda Hajji Ssempala Ahmed Mukodo kiwadde abayizi abava mu famire ezitesobola abawerera ddala 11 ‘Bursary’ ezisasuliddwa okumalako okusoma.

Hajji Mukodo agambye bali mukawefube ow’okutalaaga Uganda nga mubuli ‘district’ baliko abaana bebakwasizako mubyokusoma.

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *