GAVUMENTI NEERA ESABYE PALAMENTI EGIKKIRIZE YEEWOLE EZ’OLUGUUDO
Government etaddeyo okusaba kwayo eri palamenti okuyisa ebbanja (loan) lya bukadde bwa Euro 216.71 okuva mu African development fund nendala obukadde 84.41okuva mu African Development Bank nga kuno kwogasse n’obukadde obulala obwa Euro 25.981 okuva mu ggwanga lya Spain ez’okudaabiriza oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva e Kampala okutuuka e’Malaba.
Bwabadde awaayo okusaba kuno mu lutuula lwa palament , minister omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugolobi agambye nti sente ze baagala zaakubayambira ddala ngera singa palament tekiriza kiluyisa nsimbi zinno kyandiletera emirimu okutataganyizibwa kuba mukaseera kano tebalina sente.
Speaker Anita Among okusaba kuno akusindise buterevu mu kakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byenfuna bye gwanga aka National Economy n’akavunanyizibwa ku byengundo nokuzimba aka Physical lnfrastructure okwekeneenya okusaba kuno, n’oluvanyuma baleete alipoota enambulukufu esomebwe mu palamenti eraga byebazudde.
Bya Namagembe Joweria