Politics

Gavumenti olugendo lwokumalawo akawuka ka mukenenya mu 2030 erukutte n’amanyi

Minisitule y’eby’obulamu erangiridde enteekateeka y’okuleeta eddagala erigenda okuyambako mukukendeeza akawuka akaleeta mukenenya okusaasaana ngalino liri mu bika bisatu okuli empiso ,akaweta saako n’amakerenda ,ng’edaggala lino liwebwa abo abatanafuna kawuka kamukenenya .

Okusinziira ku Dr. Herbet Kadama omukwanaganya wenteekateeka z’eddagala lino erya Pep, agamba eddagala lino okuli erya Cabotegravir ng’eno empiso nga lyakutandikira mu district eziwerera ddala musanvu okuli Mbarara ,Guru ,Kitigum Namakwekwe ,Malaba saako nemumalwaliro ga Gavumenti ag’enjawulo nga doozi ezisooka zisuubirwa okutuuka mu ggwanga n’okutandika n’omwezi ogw’omwenda omwaka guno olwo eziddako zisuubirwa okutuuka mu mwezi ogw’okubiri omwaka ogujja.

Enkozesa y’eddagala lino ng’empiso eno, webajikkuba emala mumubiri emyezi ebbiri ate ko akaweta okasa mubukyala okumala omwezi gumu ngawegata n’omuntu alina mukenenya edaggala eryo likatta ,ono agamba eddagala lino terisosola ngabuli muntu alyagala balimuwa oluvanyuma lw’okutuukirira omusawo nakunyonyola era ono asabye bannayuganda obutatya ddagala lino olwesonga teririna bulabe bwona eri obulamu bwabwe.

Ye Dr. Flavia Matovu Kiweewa okuva mu Makerere University ne Johns Hopkins ng’ono yeyakulemberamu okunonyereza ku ddagala lino kumutendera gwa purpose 1 mu Uganda erya lenacapavir ne ftaf, agamba banoonyereza mubitundu 28 nga ebitundu 25 okuva mugwanga lya South Africa ate ebitundu 3 babikolera wano mu Uganda okuva mukitundu kye’Mubende ,Masaka saako ne Mityana nga abaana abobuwala abali wakati wemyaka 16 ne 25 bebagezesezako eddagala lino wabula ngalyakomawo ng’ebitundui 100% ku 100% abawala bano bali tebafunye kawuka kamukenenya.

Era kyazulibwa nti edaggala lya lenacapavir limalira ddala emyezi mukaaga mu mubiri.

Dr. Flavia ayongedde nategeeza nga mukononyereza kuno bwebaakizuula ng’abaana abawala bettanira nyo eddagala ly’empiso okusinga okumira amakerenda edaggala lino erya lenacapavir limala mumubiri emyezi mukagga era ategezeza nti eddagala lino likola kubakyala ,abami saako n’abaana abato wadde ngalyagezesebwa kubawala abato oluvanyuma lwokukitegeera nti abawala bano bebasinga okukwatibwa obulwadde buno obwamukenenya.

Omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu era ng’ayabadde omugenyi omukulu Dr. Kazira Dian Atwine ku Imperial Royal wano mu kampala bannamawulire mwebabategereza bino, ategezeza nga Gavumenti bwesanyukira abantu abavaayo okubakwasizako mukulwanyisa edwadde ezitali zimu ng’era basanyukidde nnyo enkola zino ezokuziyiza akawuka akaleeta mukenenya olw’esonga zakubayambako okutuukiriza ekirooto kyabwe ekyokumalawo akawuka akaleeta mukenenya bwegunatukira mumwaka gwa 2030.

Bya Bulyaba Hamidah

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *