Politics

Ibun Hamis ekyazizza abasomesa UNEB bebangula munsomesa empya.

Ekitongole ekivunanyizibwa kubigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) tekitudde nga kikyagenda mumaaso nokubangula abasomesa ku nsomesa empya eyaletebwa gyebuvuddeko mu 2020 okuva kunkadde eyaliwo basobole okujitegera nokujikugukamu.

Kinajukilwa nti gyebuvuddeko UNEB yatongoza ensoma empya eri amasomero ga secondary kumutendera gwa ‘O level’ nga kati abayizi essira basinga kuliteeka ku ‘practicals’ okwongera obuyiiya mubayizi.

Kati UNEB egenda etekawo enkambi ezenjawulo okubanguliramu abasomesa b’amasomero ga secondary mubitundu by’eggwanga ebyenjawulo okwongera okukuguka munsoma eno empya. Bangi kubasomesa babadde bemulugunya nti ‘syllabus’ empya tebajitegera bulungi ekibadde kiretedde nabamu kubayizi obutakwata bulungi bibasomesebwa,UNEB kwekusalawo okwongera okubangula abasomesa bano ekigenda okukendeeza kubumulumulu obubaddewo.

Esomero elyalondeddwa mu gombolola ye Gombe mu Wakiso okubangulirako abasomesa bano oluvanyuma lwa UNEB okwekeneenya obulungi nti lirina ebisanyizo byonna ly’erya Ibun Hamis Islamic secondary school E Kigogwa Matuga mu Wakiso. Era abasomesa okuva kumasomero agenjawulo bakungaanidde wano okubangulwa ku ‘curriculum’ empya.

Pearl fm eyogeddeko nomukungu wa UNEB akulembeddemu okubangula abasomesa bano ku Ibun Hamis Aimo Deborah Sarah nagamba nti ebitundu ebisinga ebyewala abasomesa bamaliriza dda okubabangula nga kati essira balitadde mubitundu byamasekati era ngasuubira nti omusomo wegunagweera abasomesa bajjakuba bayize bingi nga basobolera ddala okusomesa abayizi nga buli kimu bakitegera.

Yye amyuka ‘principal’ wa Ibun Hamis Islamic secondary school e Kigogwa Matuga Hamza Kasirye asiimye aba UNEB okubalengera nti basaanidde okukyaza abasomesa okuva mugombolola ye Gombe okwongera okubangulwa ku ‘syllabus’ empya kumutendera gwa siniya eyokuna. Kinajukirwa nti Ibun Hamis eno yeyasooka okutongoza enkola ya ‘E Learning’ eyambako abayizi okusoma nga bayita kumitimbagano okuva kubasomesa abenjawulo era nga abayizi bajiganyuddwamu nnyo era eretedde esomero lino okukola obulungi mubigezo byeddiini nebya UNEB.

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *