Ibun Hamis Islamic SS Matuga batikidde ba Hafidhu neba Sheikh
Abayizi abawerera ddala 30 nga kubano 7 bawala,bebatikiddwa kusomero lya Ibun Hamis Islamic Secondary School E’Kigogwa Matuga mu Wakiso oluvannyuma lw’okumalako obwa Sheik kumutendera ogwa Thanawi omwaka oguwedde ogwa 2023.
Mungeri yemu n’abayizi 13 nabo batikiddwa okuva kusomero lyerimu olwokumalako ekitabo ekitukuvu ekya Quran.
Mubayizi abatikiddwa kwekuli n’omuyizi Kajoba Rayan Amir eyasinga abalenzi bonna mu Uganda wamu ne Basirika Husinah eyasinga abawala bonna mu Uganda kumutendera gwa Thanawi.
Omugenyi omukulu abadde omumyuka wa Mufuti owokubiri Dr. Hafiz Muhammad Haruna Bukenya era mububaka bwe asibiridde abatikiddwa entanda okwewala okubuza abantu ne Irim ewabya n’okutematema mubantu. Abasabye okukozesa emitimbagano mungeri esaanidde wabula seyo etyobola nokuvumaganya obusiramu.
Mububaka bw’omutandisi wa Ibun Hamis Islamic Secondary School e Kigogwa Matugga Sheik Amir Katudde ayozayozezza abayizi abamazeeko obuwalimu olwokufuula Ibun Hamis namba emu mu Uganda yonna mubigezo bya Idaadi ne Thanawi ebyomwaka oguwedde wamu nabamazeeko Quran nabasaba okusomesa Irim eno eri abasiramu.
Agambye nti kati ibun Hamis eyongedde okussa essira kubya tekinologiya nga bayita munkola ya E- Learning wamu namasomo ag’omutwe, nga okusomesa Computer,okusomesa okutunga,okukanika,okufumba kubanga nakyo bakizudde nga kyamugaso eri abaana bebafulumya okusobola okuvuganya obulungi mukatale k’emirimu.
Abayizi Kajoba Rayan Amir wamu ne Basilika Husina abasinga mu Uganda yonna esomero lino erya Ibun Hamis libawadde olugendo lwa Umrah nga akabonero akokubasiima.Omu kuba Director ba Ibun Hamis sheik Siraje Kasirye awadde omuyizi Kasirye Abdul Rahim asukulumye kubanne mukusoma Quran olugendo olutukuvu olwa umrah okugenda e Makkah.
Omukolo guno gwetabiddwako abebitiibwa bangi okuli sheik Sufian Muguluma Principal wa bilal Kakiri, General Manager wa Pearl fm Ssozi Mohammed Haroon,Regional Kadhi wa Kampala Sheik Hamid Sserwadda Busungu, Sheik Habilu Kakooza ng’ono awaddeyo obukadde bwa Uganda busatu eri essomero lino mubalala abetabye kumukolo guno ye Sheik Sowedi Katumba omu kubakulira ekitongole ekya Idaadi and Thanawi Examinations Board,abakulu bamasomero g’obusiramu agenjawulo,nabakungu abalala bangi.
Bya Tenywa Ismail Idirisa