Politics

Iqra Islamic – Buddo basabidde aba p.7 n’okwolesa ebitone.

Ssentebe w’ekitongole ky’ebyenjigiriza ekya Link of Islamic schools Uganda sheikh Ali Lukyamuzi akalatidde abazadde bulijjo okusabiranga enyo abaana babwe kibayambeko okuwangula nokuvvunuka okusomozebwa okuli munsi.

Sheikh Lukyamuzi okwogera bino abadde omugenyi omukulu kusomero lya Iqra Islamic Primary School e’Buddo Maggwa mugombolola ye Nsangi mu Wakiso kumukolo gw’okusabira abayizi b’ekibiina ekyomusanvu abagenda okutuula ebigezo byabwe ebya UNEB nebyediini ebya IPLE ebyomwaka 2024.

Mubuufu bwebumu abayizi besomero lino boleseza ebitoone kulunaku lwebatumye Iqra Islamic Cultural Day nga muno boleserezamu okusoma Quran,okwogera oluwarabu,okutontoma,okuzannya emizannyo ejikwata kubaana,emisono gy’obusiramu nebirala.

Sheik Ali agambye n’abazadde okwagazisa abana babwe ediini kikulu kulwempisa n’obuntu bulamu. Asibiridde abazadde entanda naddala kubaana abagenda muluwummula okubakuuma obutiribiri kumize emikyamu nebanakyigwanyizi abayinza okubagya kumulamwa.

Mungeri yemu nabayizi ba abamazeko top class batikiddwa okuyingira mubutongole omutendera gwa primary.

Omukulu w’esomero lya Iqra Islamic primary school Buddo Maggwa Hajjat Naluwembe Sophie Ddimba asiimye abazadde ababesize okubasomeseza abaana. Agambye nti kyamukisa nti basabidde abaana babwe abeky’omusanvu.

Mungeri yemu asabye abazadde bulijjo okulondanga amasomero agasobola okuzimba omwana mubyediini noluzungu. Asiimye Ssabasomesa Hajji Dimba Umar olwokutandikawo esomero lino eliyambye okuteekateeka abaana kunjuyi zombi.

Bya Tenywa Ismail. Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *